okunnyonnyola ebikolo by'obukkiriza ......n'obumalirivu, okwolesebwa n'olulimi nga...
TRANSCRIPT
1
رحـــــش
انـــــول اإليمــــــأص
'' نبذة في العقيدة "
باللغة اللوغندية
OKUNNONNYOLA
EBIKOLO Y'OBUKKIRIZA
MULULIMI OLUGANDA
لفضيلة الشيخ:
محمد بن صالح العثيمين
KYAWANDIIKIBWA:
SHEIKH: MUHAMMAD BUN SWALEH
AL UTHAIMEEN
KIVVUUNUDDWA:
FAROOQ ABDULNOOR NTANDA.
2
KIKAKASIDDWA:
SHK: ABDULRAHMAAN IBRAHIIM
MUKISA.
الطبعة األولى
1410ه
3
EBIRI MUKITABO KINO.
OMUTWE OLUPAPULA
1- Ennyanjula……………………………………..….….…..4
2- 2- Eddiini y'obosiraamu…………………….…..…..…….6
3- Empagi z'obusiraamu……………………………..….……11
4- Emisinji jenzikiriza y'obusiraamu…………..….……….…15
5- Okukkiriza Allah…………………………..………………16
6- Okukkiriza bamalayika……………………………………32
7- Okukkiriza ebitabo…………………………………...……37
8- Okukkiriza Ababaka…………………………………….…39
9- Okukkiriza olunaku lwenkomerero………………….….…46
10- Okukkiriza okugera………………………………………64
11- Ebigendererwa byenzikiriza y'obusiraamu…………….…75
4
بسم هللا الرحمن الرحيم
ENNYANJULA
Mazima amatendo amalungi, amajjuvu ga Allah owekitiibwa
nanyini buyinza, tumutendereza, netumusaba okutuyamba,
netumwenenyeza era netumusaba okutusonyiwa, twewogoma
jaali okuwona obubi bw'emyoyo jaffe n'emirimu jaffe emibi,
oyo yenna Allah gwaba alungamizza teri ayinza kumubuza ate
negwaba abuzizza teri ayinza kumulungamya, njatula n'olulimi
lwange nenkakasa n'omutima gwange nti tewaliiwo asiinzibwa
mubutuufu okujjako Allah yekka, era nga talina kimwegattako
mubufuzibwe nemukuteekerateekera ensi eno, Era nkakasa nti
mazima Nabbi Muhammad (emirembe n'okusasira kwa Allah
bibeere kuye) muddu we era mubaka we. Nensaba Allah
asaasire abenyumba ye wamu ne baswahaba be nabuli yenna
abagoberera mukkola n'okulagirira empisa ennungi okutuusa
Allah lwalizingako ensi eno.
Mazima okumanya okwawula Allah mukumusiinza
(Tawuhiid) kwekumanya okusingayo okuba okwekitiibwa
n'okuba muddaala eryawaggulu, n'okuba nga kyatteeka eri buli
muntu okukunoonya, kubanga kwekukumanyisa Allah
mubutuufu bwokumumanya, mumanyage n'ebitendo bye wamu
ne byabanja abaddu be okumukolera.
Olwokuba nga okwawula Allah kyekisumuluzo ky'ekkubo
erikutwala gyali, era nga gwemusingi okuzimbibwa
ebiragirobye n'amateekaage, yensonga lwaki ba Nabbi bonna
begatta mukukowoola okwawula Allah mukumusiinza. Allah
y'agamba mu Qura'n eyekitiibwa, nti:
5
ٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ڀ ڀ ٺ ٺ ٺ چ ٹ ٹ
٢٥األنبياء: چ
{Tetwatuma luberyeberyelwo mubaka yenna (eri abantu)
okujjako twamuwanga obubaka obugamba nti tewaliiwo
atekeekeddwa kusiinzibwa mubutuufu okujjako nze (Allah)
bansiinze}
Bwatyo Allah yekakasaako obw'omu bwe (obwanamunigina)
mukusiinzibwa, bwekityo nebamalayikabe bajulira kyekyo,
bwebatyo nebannanyini kumanya. N'agamba nti
ڦ ڄ ڄ ڄ ڦٿ ٿ ٹ ٹ ٹ ٹ ڤ ڤ ڤ ڤ ڦ ڦٹ ٹ چ
ڄ ڃ ڃ
{Allah ajulira nti mazima ddala tewaliiwo kisiinzibwa
mubutuufu okujjako ye, nebamalayika be bajulira kwekyo,
bwebatyo nebanannyini kumanya, ayimiridde kubwenkanya
(okubanga yasiinzibwa) tewaliiwo kisiinzibwa mubutuufu
okujjako ye owekitiibwa ateeka buli kintu mukifo kyakyo} Okwawula Allah bwekuba nga kulu bwekutyo kiba kifuuse
kyatteeka eri buli musiraamu okufaayo ennyo okusoma tawuhid
(okwawula Allah mukumusiinza) n'okumusomesa,
n'okumwekenneenya wamu nokumukkiririzaamu, asobole
okuzimba enzikirizaye kumusingi omutuufu Era omulamu,
n'okutebenkera (mumutima), kubanga obulamu n'obutuufo
bw'omusingi bukuwa okwesiima n'ebibala ebiruungi.
6
EDDIINI Y'OBUSIRAAMU.
Obusiraamu yeddiini Allah gyeyatuma nayo omubaka
Muhammad (s.a.w) nafundikira nayo eddiini zonna, era
nagijjuliza abaddube, najjuza nayo gyebali ebyengeerabye,
byatwo nagibasiimira okubeera eddiini yabwe, era Allah
takkiriza ddiini ndala yonna kumuddu we etali yabusiraamu.
Allah y'agamba mu Qura'n:
ۈئ ۈئ ۆئوئ ۇئ ۇئ ۆئې ى ى ائ ائ ەئ ەئ وئ ٹ ٹ چ
ېئ ېئ ېئ ىئ چ األحزاب: ٤٠
{Muhammad (s.a.w) tabeerangako kitaawe w'omu mubasajja
mumwe, wabula mubaka wa Allah, era ye wenkomerero muba
Nabbi, Allah kubuli kintu kyonna mumanyi}
Era Allah n'agamba nti:
ڎچ چ چ ڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ چ ٹ ٹ چ
٣المائدة: چگ
{Olwaleero mbajjulizza ediini yamwe, era nenzijuza kumwe
ekyengera kyange, Era nembasiimira Obusiraamu okuba nga ye
ddiini yamwe}
Era Allah n'agamba nti:
١٩آل عمران: چگ چڃ ڃ چ چ چچ
{Mazima ediini emanyidwa ewa Allah bwebusiraamu}.
Era n'agamba nti:
چڦ ڦ ڦ ڄ ڄ ڄ ڄ ڃ ڃ ڃ ڃ چ چ چ چ ٹ ٹ
٨٥آل عمران:
7
{Oyo yenna anoonya ekitali busiraamu okubeera eddiini ye,
tegeenda kukkirizibwa kuye, era kunkomerero agenda kubeera
mubafafaaganidwa}
Era Allah y'alaalika kubantu bonna okumusiinziza
mubusiraamu n'akowoola omubaka Muhammad (s.a.w)
n'amugamba nti:
ڻ ڻ ۀ ۀ ہ ہ ہ ہ ھ ھ ھ ھ چ ٹ ٹ .
ۇ ۆ ۆ ۈ ۈ ٴۇ ۋ ۋ ۇۓ ۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ےے
١٥٨األعراف: چۅ ۅ ۉ ۉ ې
{Gamba (gwe Muhammad ''s.a.w'') abange mwe abantu Mazima
ddala nze ndi mubaka wa Allah eri mwe mwenna, oyo alina
obufuzi bwamagulu omusaanvu ne nensi, tewaliiwo asiinzibwa
mubutuufu okujjako ye, y'awa obulamu era y'afiisa, Mukkirize
Allah n'omubaka we, oyo Nabbi atasobola kusoma biwandiiko
wadde okuwandiika, oyo akkiririza Allah n'amateekaage,
Mumugoberere lwemujja okulungama}.
Ate mukitabo kya musirimu, hadith nga eva ku abu hurairah
(Allah yasiima kuye) nga agijja kumubaka wa Allah y'agamba
nti:
وال نصراني والذي نفس محمد بيده ما يسمع بي أحد من هذه األمة يهودي)
(ثم يموت ولم يؤمن بالذي أرسلت به إال كان من أصحاب النار
(Ndayira (Allah) oyo alina omwoyo gwange mumukono gwe,
tewali noomu ampulirako mubantu b'ekibiina kino
kyennatumwaamu (Ummat daawa), kaabe muyudaaya oba
mukulisitaayo, oluvannyuma n'atukibwako okufa nga
takkiririzza ebyo byenatumwa nabyo okujjako abeera
wamubantu bomumuliro).
8
N'okukkiririza Nabbi (s.a.w): kwekukasa nti byonna byeyajja
nabyo by'amazima wamu n'okubikkiriza, nokibikolerako, sossi
kukkiririza bukkiriza nti byamazima nga tobikolerako.
Nolwensonga eyo Abu twalibu (taata wa Nabbi omuto) teyali
mukkiriza wa Nabbi (s.a.w) newankubadde nga yali akakasa nti
Nabbi byeyali ayogera g'ali Mazima, n'okukakasakwe nti
Obusiraamu yeddiini esinga obuluungi.
Eddiini y'Obusiraamu: ejjudemu emigaso n'ebiruungi byonna
ebyali mumadiini amalala agasooka, naye ate yo enkizo jerina
kugo gonna, kwekuba nti etuukagana nabuli mulembe, nabuli
kifo kyonna era nabuli kitundu, Allah yakowoola omubaka we
Nabbi (s.a.w) n'agamba nti:
ژڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ ڎ ڎ ڈ ڈ ژچ ٹ ٹ
٤٨المائدة: چۆ
{Twassa gyooli ekitabo (Qura'n) mumazima, era nga kijjudde
mazima, nga kikakasa ebitabo ebyo ebyakikulembera (nga
tawraat ne njiri) era nga kiramuzi ekisengezzi kubyo}
N'amakulu agali mukuba nti Obusiraamu butuukagana nabuli
mulembe, nekifo, nabuli kibiina kyabantu: kwekuba nti
okubwekwatako tekigaana migaso nabiruungi okuyimiridde
obulamu bwabantu, mubuli mulembe nemubuli kifo nemubuli
kibiina kyonna. Wabula butambulira wamu nabyo,
newankubadde ekyo tekitegeeza nti Obusiraamu bwebuli wansi
wabyo (nga bwebubigoberara), nga abantu abamu bwebaagala
kibeere.
Era eddiini y'Obusiraamu: yeddiini eyamazima eyo Allah
jeyaweerako obweyamu okutaasa oyo yenna asalawo
okujeekwatako mubulikimu, Era nga yeeyama okujoolesa
okubeera waggulu w'enzikiriza endala zonna. Era yensonga
lwaki Allah y'agamba nti:
9
چک ک گ گ گ گ ڳ ڳ ڳ ڳ ڱ ڱ ڱ ڱ ں چ ٹ ٹ
٩الصف:
{Ye yooyo eyatuma omubaka we n'obulungamu wamu neddiini
ey'amazima alyoke ajiwanguzise era agyolese kuddiini zonna
endala ezisigadde newankubadde nga abagatta ku Allah
bakitamwa}.
ڤ ڤ ڦ ڦ ڦ ڦ ڄ ڄ ڄ ڄ ڃ ٹ ٹ چ
ڎڃ ڃ ڃ چ چ چ چ ڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ
النور: چگ ڑ ک ک ک ک گ گ ڑڎ ڈ ڈ ژ ژ
٥٥
{Allah yalaganyisa abakkiriza mumwe era nebakola emirimu
emiruungi, nti ajja kubasikiriza ddala ensi eno (babe nga
bebafuzi muyo) nga bweyagisikiza ababasooka, Era ajja
kubatebenkereza eddiini yabwe (busiraamu) eyo jeyabasiimira,
Era ajja kubakyusiza okutya kwabwe n'obunkeke bifuuke
mirembe myereere, bansiinze nga tebangattako kintu kirala
kyonna, Nayenna an'ampakanya oluvanyuma lwebyengera ebyo,
abo bebajeemu abonoonefu}.
Eddiini y'Obusiraamu: Nzikiriza n'amateeka (sharia), era
nga nzijuvu munzikiriza yaayo nemumateeka gaayo
n'ebyobulamuzi.
1. Eragira okwawula Allah mukumusiinza n'okumutongoza era
n'egaana okumugattako ekintu ekirala kyonna.
2. Eragira okwogera amazima era n'eziyiza obulimba.
3. Eragira obwenkanya ate n'egaana obulyazamaanya, nga
obwenkanya buzingiramu n'okuteeka awamu ebifaanagana
n'okwawula ebitafaanagana, nga era Obusiraamu bwawula
wakati w'obwenkanya n'omwenkanonkano.
10
4. Eragira obwensimbu era n'egaana obukumpanya.
5. Eragira okutuukiriza era n'egaana okwawukana kundagaano.
6. Eragira okuyisa obuluungi abakadde era n'egaana
okubajeemera nokubayisa obubi (wadde okubekaanya).
7. Eragira okuyunga enganda, nga n'abo beebo betulinako
oluganda (olwokumpi newala). Era n'egaana okukutulawo
oluganda.
8. Eragira okuyisa obuluungi mulirwaana, era n'egaana
okumuyisa obubi (nga okola ebimunyiiza).
N'ekigambo ekibuna byonna: Obusiraamu bulagira empisa
zonna ennungi era nebuziyiza empisa embi ezitali zamubantu.
Era nebulagira buli mulimu omuluungi, nebugaana buli mulimu
omubi, Allah y'agamba nti:
چ چ چ ڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ چٹ ٹ چ
٩٠النحل: چڈ ژ ژ ڑ ڈڎ ڎ
{Mazima ddala Allah alagira obwenkanya, n'okwesiya
obuluungi, n'okuwa abenganda, Era n'agaana obwonoonefu,
n'ebitasaana, n'okulumbagana ebitonde (okwembeera zonna),
ababuulirira (abalagira era nabaziyiza) mulyoke mwebulirire}
11
EMPAGI Z'OBUSIRAAMU.
Empagi z'Obusiraamu: Gyemisingi gyabwo kwebuzimbidwa,
Era nga ziri taano, z'ayogerwa mubigambo bya Nabbi '' s.a.w''
(Hadith) ebyatunyumizibwa swahaba ayitibwa ibn umar
(okusaasira kwa Allah kube kubombiriri) nti Nabbi (s.a.w)
yagamba:
م على خمس: شهادة أن ال إله إال هللا, وأن محمدا عبده بني اإلسال"
ان, والحج " فقال رمض قام الصالة, وإيتاء الزكاة, وصيامورسوله, وإ
صيام رمضان, والحج, هكذا سمعته ,رجل : الحج وصيام رمضان؟ قال: ال
واللفظ لمسلم. ,من رسول صلى هللا عليه وسلم" متفق عليه
(Obusiraamu bwazimbibwa kumpagi taano, okukakasa
nokujulira nti tewaliiwo kisiinzibwa mubutuufu okujjako Allah,
n'okakasa nti Nabbi Muhammad mudduwe era mubakawe,
n'okuyimirizaawo eswallah ettaano buli lunaku, n'okutoola
zakkah mummaali yo, n'okusiiba omwezi gwa ramadhan,
n'okulambula enjumba ya Allah eyemizizo (okukola hijja))
omusajja kyava abuuza okkola hijja nokusiiba? n'amuddamu, nti
nedda okusiiba n'okkola hijja bwetyo bwennawulira omubaka
wa Allah nga agamba, hadith yegattibwako Bukhari ne
musirimu, nga enjatula eno ya muslimu.
1: Okukakasa nokujulira nti tewali asinzibwa mubutuufu
okujjako Allah. Era n'okukakasa nti Nabbi Muhammad (s.a.w)
muddu we era mubaka we: kwekukiriza mumutima,
n'obumalirivu, okwolesebwa n'olulimi nga omuntu
mubumalirivu bwe mukukkiriza alinga alaba
kukyakkiririzaamu, okukakasa nokujulira kuno kwafuulibwa
Empagi emu newankubadde nga ebijulirwa bisukka mukimu.
Ekyo nga kiyinza okuba nga kiva kunsonga nti; lwakuba Nabbi
Muhammad obubaka bwatutusaako abujja ku Allah, nekiba nti
okujulira nti muddu era mubaka wa Allah, kitundu ekijjuuliriza
12
okujulira n'okukakasa nti tewali kisinzibwa mubutuufu kyonna
okujjako Allah.
Oba okuba nti okujulira (okwemirundi ebiri) nti Allah yekka
yalina okusiinzibwa, ne Nabbi Muhammad okuba omuddu we
era omubaka we, gwemusingi oguzimbidwako okutuukirira
kwemirimu jetukola n'okujikkiriza. Kubanga omulimu gwonna
tegusobola kuba mutuufu era mutuukirivu wadde okukkirizibwa
okujjako nga gukoledwa ku lwa Allah wamu n'okubanga
gukwatagana n'enjigiriza y'omubaka Muhammad (s.a.w).
Nekiba nti okukola omulimu kulwa Allah kituukiriza okukakasa
nokujulira nti tewali asinzibwa mubutuufu okujjako Allah. Era
n'okkola omulimu okusinziira ku njigiriza y'omubaka (s.a.w)
kituukiriza okujulira nti Muhammad muddu we era mubaka we.
Ebimu kubibala byokujulira nti Allah yasinzibwa yekka wamu
ne Nabbi Muhammad okuba omubakawe; kwekununula
omwoyo n'omutima gw'omuntu okuva mubuddu bwebitonde,
n'okuwona okugoberera abo abali ba Nabbi okuva ewa Allah
(banabbi abobulimba).
2: ate okuyimirizaawo eswala; kwekusiinza Allah n'ebikolwa
byayo (eswalah) mumbeera eyobwesiimbu, mubujjuvu,
mubiseera byayo, nemungeri jeyalaalikwamu.
N'ebimu kubibala by'okuyimirizaawo eswalla; okubeera
nekifuba ekyanjulukufu, ekitangira okukola ebyonoono,
n'ebitamwa.
3: Ate Okuwa zakka: kwekusinza Allah nga otoola ekigero
ekyetteeka mubyobugagga byo ebiwebwamu zakkah n'okiwa eri
bannanyini kyo.
Mubibala byokuwa zakka: okutukuza omutima okuva
mumpisa embi eyobukodo, nokumala ebyetaago by'Obusiraamu
n'Abasiraamu.
13
4: Ate okusiiba ramadhan: kwe kusiinza Allah nga oleka
byonna ebisiibulula emisana mu Ramadhan (nga okulya
n'okunywa nebyobwagazi).
Mubibala by'okusiiba; Okumanyiza omutima okulekayo ebyo
byegwala olwokwagala okusiimibwa Allah.
5: Ate okukola hijja: kwe kusinza Allah n'ogenda kunyumba
ye eyekitibwa (Kaaba) n'oyimirizaawo emikolo gya hijja.
Ebimu kubibala byo kkola hijja: Okumanyiza omutima
okuwaayo sente n'omubiri mukusiinza n'okugondera Allah. Era
eyo yensonga lwaki hijja gumu kumiteeko jokulwana mukubo
lya Allah (jihaad).
Ebyo ebibala byetwogeddeko, nebyetutayogeddeeko
kumisingi gino, bifuula ekibiina (Ummah) okuba nga
Kisiraamu, kitukuvu era nga kiyonjo, kisiinza Allah muddini
entukuvu entuufu eyamazima, n'okkolagana n'ebitonde
mumazima n'obwenkanya, kubanga byonna ebitali misingi gino
mumateeka g'obusiiramu biloongoka nokuloongoka kw'emisingi
gino, n'embeera z'abantu ziloongoka lwakuloongoka kwa
mbeera yanzikiriza yabye, Era abantu basubwa okuloongoka
mumbeera zaabwe okusiinzira nga bwebaba basubidwa
okuloongoka kwenzikiriza yabwe.
N'ayagala okunyonnyoka obuluungi ensonga eno asome etteeka
lya Allah erigamba nti:
ٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ڀ ڀ ٹ ٹ چ
ٺ ٺ ٺ ٿ ٿ ٿ ٿ ٹ ٹ ٹ ٹ ڤ ڤ ڤ ٺ
چ چ چڤ ڦ ڦ ڦ ڦ ڄ ڄ ڄ ڄ ڃ ڃ ڃ ڃ چ
٩٩ - ٩٦األعراف: چڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ
{Singa bannanyini byalo bakkiriza Allah n'omubaka we era
nebagondera amateekaage, twandigguddewo jebali emikisa
14
(ebiruungi) okuva muggulu nemunsi, naye b'alimbisa Allah
nababaka be, netubabonereza olwebyo byebaali bakola, Abaffe
bannanyini byalo tebatidde kubanga bakkibwako ebibonerezo
byaffe ekiro nga nabo beebase, oba abaffe tebatidde bibonerezo
byaffe kubakkako mubiseera ebyenkya nga bali mubyaabwe,
abaffe balowooza nti bagenda kuwona enkwe za Allah (nga
abatwaliriza nebyengeraabye, ngabwebagenda mumaaso
n'okumujeemera), tewali atatya nkwe za Allah okujjako abo
abafafaaganirwa}.
Kyabadde kiruungi omusiraamu atunuleko mubyafaayo
byabatusooka, kubanga ebyafaayo ebyo bilimu ebyokuyiga eri
abo abalina okutegeera era birimu n'okulungamizibwa eri oyo
Allah gwataateeka nvumbo kumutima gwe. Tusaba Allah
atubeere.
15
EMISINGI GY'ENZIKIRIZA Y'OBUSIRAAMU
Eddiini y'Obusiraamu nga bwetwakirabye mukusooka, nzikiriza
wamu n'amateeka n'ebiragiro, Era netunokonako kugamu
kumateeka gaayo, netulaba empagi zaayo ezitwalibwa okuba nti
gyemisingi okuzimbidwa amateeka ago.
Naye ate enzikiriza y'obusiraamu, emisingi gyayo:
kwekukkiririza nti Allah (asiinzibwa) alyomu, n'okukiriza
bamalayika be, nebitabo bye, n'ababaka be, nokukkiririza
olunaku lwenkomerero, n'okugera kwe ekiruungi nekibi.
Emisingi gino girina obujulizi okuva mu Qura'n eyekitiibwa
wamu nemunjigiriza y'omubaka Muhammad (s.a.w).
Obujulizi okuva mu Qura'n, Allah y'agamba nti:
ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ڀ ڀ ٺ ٺ ٱچ ٹ ٹ
٧٧١البقرة: چڈ ٺ ٺ ٿ ٿ
{Tekuli okkola obuluungi mukwolekeza ebyenyi byamwe eri
ebuvanjuba nebugwanjuba, naye okkola obuluungi, kuli kwoyo
yenna akkiriza Allah, n'olunaku lwenkomerero, neba Malayika,
n'ekitabo (Qura'n), neba Nabbi}
Era Allah n'agamba kukugera nti:
القمر: چٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ حت خت مت ىت يت جث ٹ ٹ چ
٥٠ - ٤٩
{Mazima buli kintu kyonna twakitonda n'enteekateeka yakyo,
era tekuli okusalawo kwaffe (byetuba twagadde okutonda ekintu
kyonna) okujjako nga bw'olaba olutemya lweriiso}
16
Ate okuvaako mubigambo bya Nabbi (hadiith), owekitiibwa
(okusaasira nemirembe bibeere kuye) bweyali nga ayanukula
ebibuuzo ebyamubuuzibwa Malayika jibriir kubukkiriza
y'agamba nti:
"اإليمان أن تؤمن باهلل, ومالئكته, وكتبه, ورسله, واليوم اآلخر, وتؤمن
بالقدر خيره وشره " رواه مسلم.
(Obukkiriza, kwekukkiriza Allah nti alyomu nokukkiriza nti
yasiinzibwa mubutuufu, nebamalayika be, nebitabo bye,
n'ababaka be, n'olunaku lwenkomerero, n'okukkiriza okugera
kwe obuluungi bwaakwo nobubi bwako). Hadith
yatunyumizibwa musirimu.
OMUSINGI OGUSOOKA: OKUKKIRIZA ALLAH
OWETIIBWA.
Okukkiriza Allah kuzingiramu ebintu bina:
Ekisooka: okukkiriza okubaawo kwe, era nga okubaawo kwe
kulina obujulizi bwamirundi ena, obubumbwa, amagezi,
obubaka obwassibwa ukuva eri Allah n'omubaka we, okubaawo
kwebitonde ebirabwako.
1: obujulizi by'obubumbwa kukubaawo Kwa Allah: Mazima
buli kitonde kyatondebwa kububumbwa obwokukkiriza
omutonzi, nga tekisoose kulowooza nnyo kwekyo wadde
okuyigirizibwa, era tewali ava kububumbwa obwo okujjako oyo
aba afunye okubuzaabuzibwa mumutima gwe, oba okufuna
ekintu ekirala nekimuwugula n'abuvaako.
Nabbi (s.a.w) yagamba:
ما من مولود إال يولد على الفطرة, فأبواه يهودانه, أو ينصرانه, أو "
يمجسانه" رواه البخاري.
17
(Tewali mwana yenna azaalibwa okujjako nga azaalibwa
kububumbwa (bw'obusiraamu, nokwawula Allah) naye bakadde
be bebamufuula owenzikiriza eyekiyudaaya oba
eyekikulisitaayo oba asiinza omuliro (nebirara ebiringa ebyo)).
Hadith ya bukhar.
2: Ate obujulizi obwamagezi (kukubaawo Kwa Allah):
Kubanga ebitonde muntandikwa tebyaliwo, kati oluvannyuma
lw'okubeerawo, amagezi galaga nti watekeddwa okubaawo
eyabitonda, kubanga tewali kintu kisobola kwetandika wo, oba
okubeera wo nga tekirina akitaddewo.
Tekisoboka kintu kyonna kwetandika wo kubanga tewali kintu
kisobola kwetonda kyo kyennyini, kuba nga tekinnazuulibwa
tekyaliwo, kaakati ekitaaliwo kiyinza kitya okubeera
omutonzi?!.
ate era tekisoboka kubeera wo bubeezi nga tewali akitaddewo,
kubanga tewali kibeera wo okujjako nga waliwo akitaddewo,
kubanga n'okubeera wo kwakyo kwatandikibwawo butandisi,
ate n'akakwate akali wakati wokubeera wo kwebintu nesonga
ezibireetera okubeerawo kooleka buluungi nti tewali kisobola
kubeera wo okujjako nga waliwo akitaddewo era nga ye Allah
omutinzi wabuli kintu.
Kyova olaba Allah yagamba mu Qura'n kubujulizi obulaga nti
amagezi galagirira okubeerawo kwe:
٣٥الطور: چڤ ڤ ڤ ڤ ڦ ڦ ڦ ڦ ڄ چ ٹ ٹ ''
{Abaffe balowooza nti baatwondwa nga tewaliiwo yabatonda,
oba bbo bebeetonda?!}. Nekyeyoleka buluungi nti omutonzi
wabwe ye Allah eyayawukana mubiriwo byonna.
Nolwensonga eyo jubair ibn mutwi am bwe yawulira Nabbi
(s.a.w) nga asoma sulati al twuur n'atuuka ku aya ezo:
18
ڃ ڃ ڃڤ ڤ ڤ ڤ ڦ ڦ ڦ ڦ ڄ ڄ ڄ ڄ ڃٹ ٹ چ
٣٧ - ٣٥الطور: چچ چ چ چ ڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ
{Abaffe balowooza nti tewali yabatonda, oba bbo beebetonda,
abaffe oba balowooza nti bebaatonda amagulu omusaanvu
nensi, oba beebalina amawanika g'okusaasira kwamukamaawo,
oba bbo beebalina obuyinza kugo (nga basalawo nebawa
gwebagadde nebamma gwebagadde.)}
Mukiseera ekyo jubair yali simusiraamu, naye atunyumiza
n'agamba nti bweyawulira ebigambo ebyo nga Nabbi (s.a.w)
abisoma yawulira nga omutima gwe gwagala kubuukamu
guveemu, Era nga yeyali entandikwa y'obukkiriza okutebenkera
mumutima gwe.
Ekyokulabirako ekyangu kwekyo singa munno okunyumiza
nga bweyalabye olubiri olwazimbwa obuluungi era nga
lwetoolodwa emalimiro nga gayitamu emigga, nga lulimu
ebitanda ebyaliridwa obuluungi, nga luwundiddwa
nebyokwewunda ebyenjawulo. oluvanyuma n'akugamba nti
olubiri olwo nabuli kyonna ekirulimu mubujjuvu bwabyo
lwerwetandikawo oba okuba nga lwasangibwawo nga tewali
alutadde wo, oyanguwa okugaana n'okumulimbisa, era emboozi
gyakunyumirizza n'ogitwala nti temuli makulu, naye olaba
oluvannyuma lwebyo ensi eno engazi bweeti, neggulu lyako,
nebitonde ebirimu, n'embeera jebirimu, n'enkulakulana
eyaamanyi egirimu, esobola okubeera nga yeyeetandikawo nga
tewali agitadde wo?!
3: Obujulizi obuva mu Qura'n ne sunnah: ebitabo byonna
ebyassibwa okuva eri Allah bilambika buluungi okubeerawo
kwe, era nga amateeka agabirimu galiwo kulwabuluungi
bwabitonde, kabonero akalaga nti gaava wa mutonzi (Allah)
omukenkufu, Omumanyi webyo ebisinga okuba ebiruungi eri
19
ebitonde bye, era nga ebitunyumizibwa ebigakwaata kunsi
n'ebigirimu ebirabwako ebyamazima kabonero akalaga nti
byava eri omulezi era omutonzi alina obusobozi okutandikawo
ebyo byeyayogerako.
4: obujulizi kukubaawo Kwa Allah olwokubaawo kwebitonde:
buli mumbera ya mirundi ebiri.
Esooka: Mazima ddala tulaba era netuwulira okwanukulwa
kwabasaba, n'okutaasibwa kwabalaajana nga bujulizi
bwankukunala obulaga okubaawo kwe, Allah yagamba mu
Qura'n:
٧٦األنبياء: چچ چ ڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڈ ٹ ٹ چ
{Era jukira Nuuh bweyakowoola (bweyasaba) oluberyeberye
(lwo gwe Muhammad) netumwanukula}.
Era nagamba nti:
٩األنفال: چٱ ٻ ٻ ٻ ٻ ڀ ٹ ٹ چ
{Era jukkira ekiseera bwemwalaajanira omulezi wamwe (nga
mumusaba okubataasa), n'abaanukula}.
Mukitabo kya bukhari hadiith nga ejjibwa ku anasi ibn maalik
okusaasira Kwa Allah kube kuye yagamba nti:
:عليه وسلم يخطب فقال إن أعرابيا دخل يوم الجمعة والنبي صلى هللا"
يارسول هللا هلك المال, وجاع العيال, فادع هللا لنا, فرفع يديه ودعا فثار
السحاب أمثال الجبال فلم ينزل عن منبره حتى رأيت المطر يتحادر على
, قام ذلك األعرابي أو غيره فقال يا رسول هللا لحيته. وفي الجمعة الثانية
ع هللا لنا, فرفع يديه فقال: اللهم حوالينا وال تهدم البناء, وغرق المال, فاد
إال انفرجت" علينا, فما يشير إلى ناحية
(Mazima omusajja munnamalungu yayingira kulunaku lwejjuma
nga Nabbi (s.a.w) asoma khutuba, nagamba: owange omubaka
20
wa Allah, emmali ezikiridde, abantu nebagwamu enjala,
tusabireko ku Allah, Nabbi n'awanika emikono gye n'asaba
Allah, ebire nebikyukirawo nebibanga bwolaba ensozi, era yali
tanakka kuva kukituutikye enkuba n'etandika okutonya
nekulukutira ne kukirevu kye. ate ejjuma eyaddako, omusajja
munnamalungu yoomu oba omulala atali ye yayimuka nagamba:
owange omubaka wa Allah, ejumba zaffe zigudde, nemaali
n'ebbira mumazzi, tusabireko ku Allah, era Nabbi nawanika
emikono nagamba nti " ayi Allah tukusaba enkuba ogikyuse
ogitonnyese mubitundu ebirala ebitaliimu bantu era tewali ludda
lweyasonga ko okujjako nga evaawo)
Era okwanukulwa kwabo abasaba n'okukowoola Allah kimu
kubintu ebirabwako n'okutuusa essawa ya leero eri abo
ab'asalawo okuba ab'amazima mukuddukira eri Allah kunsonga
zabwe zonna era nebatuukiriza obulombolombo
bw'okwanukulwa.
Eyokubiri: Mazima obubonero bwaba Nabbi obuyitibwa
ebyamagero, abantu bwebaalabako, oba nebabuwulirako,
bujulizi obwenkukunala obulaga nti waliwo eyabatuma nga
naye ye Allah, kubanga ebyamagero ebyo byali bintu ebili
ebweru wobusobozi bwabantu, Allah yabubayisizaako,
mumbeera oy'okuwa amaanyi n'okuwagira ababaka be
n'okubataasa.
Ekyokulabirako kwekyo, kyekyamagero kya Nabbi muusa
(a.s.w) mukiseera Allah byeyamulagira akube omuggo gwe ku
Nyanja. Nagukubako, enyanja neyeeyasaamu amakubo amakalu
kumi naabiri (12) nga amazzi gali ebbali waago nga ensozi.
Allah yagamba:
ڤ ڤ ڤ ڤ ڦ ڦ ٹٿ ٿ ٿ ٿ ٹ ٹ ٹچ ٹ ٹ
٦٣الشعراء: چڦ
21
{Netubikkulira Muusa, netumugamba nti akube omuggo gwe
kunyanja, (Nagukubako) enyanja neyeyasaamu amakubo kumi
n'abiri era buli kitundu ekyeyasaamu nekibanga olusozi
olunene}.
Ekyokulabirako ekyokubiri: bwebubonero oba embyamagero
bya Nabbi Isa (a.s.w), bweyali nga azuukiza abafu nabajja
mutaana kulwobuyinza bwa Allah, Allah yagamba kulwa Isa
nti:
٤٩آل عمران: چھ ڳگ ڳ ڳ ڳچ
{Era nzuukiza abafu kulwobuyinza bwa Allah}.
١١٠المائدة: چہ ڳگ گ گ گٹ ٹ چ
Era Allah nagamba Nabbi Isa: {Era jukkira bwewazuukizanga
abafu kulw'obuyinza bwange}
Ekyokulabirako ekyokusatu: kya Nabbi Muhammadi (s.a.w)
mukiseera aba quraish bwebaamusaba akabonero akalaga
n'okukakasa nti Nabbi wa Allah, n'asonga ku mwezi
negweyasaamu ebitundu bibiri abantu nebagulaba, Allah
yagamba kusonga eyo:
ھ ھ ے ے ۓ ۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ۇ ۇ ۆ ٹ ٹ چ
٢ - ١القمر: چ
{Enkomerero esembedde, omwezi negweyasaamu, naye abantu
nebwebalaba akabonero konna bakeesamba nebagaamba nti
eryo ddogo erigenderera}.
Obubonero obwo obulabwako Allah bweyayisiza kubabaka
be, mumbeera yokukakasa obwa Nabbi bwabwe, n'okubataasa,
bujulizi obweyolefu nti Allah gyali.
22
Ekyokubiri: Okukkiririza obulezi bwe. (Okukkiriza nti Allah
alyomu yemulezi, talina kimwegattako mukusiinzibwa, wadde
okuba n'omuyambi mukuteekateeka ensi n'eggulu).
Omulezi: yooyo atonda ebitonde, alina obwakabaka n'obufuzi
obwawaggulu, Era alina ekiragiro ekisembayo kunsi neggulu
wamu n'okubiteekateeka, tewali atonda bitonde okujjako Allah,
Era tewali alina bufuzi bwabuli kintu kyonna n'abwakabaka
busembayo waggulu okujjako ye, era tewali alina kiragiro
kyankomeredde okujjako ye.
Allah y'agamba:
ڇ ڇ ڍ ڍ ٹ ٹ چ و األعراف: چہ ڻں ں ڻ ڻچ ٹ ٹ
١٣فاطر: چڎ ڎ ڈ ڈ ژ ژ ڑ ڑ ک ڌڌ
{Kukwe (Allah) okutonda n'okuwa ebiragiro}
Era n'agamba: {Oyo ye Allah omulezi wamwe, bubwe obufuzi
bwabuli kintu kyonna, n'abo bemusiinza abatali ye, tebalina
bufuzi kukantu konna, wadde akasembayo okuba akatono}.
Era teli kitonde kyonna kimanyidwa kuba nti kiwakanya
obulezi n'okutonda Kwa Allah, okujjako okuba nti kyekaza
bwekaza naye nga kikakasa mumutima gwakyo nti Allah
yeyatonda buli kimu, nga bwekyatuukawo ku falaawo
byeyagamba abantu be nti:
٤٢ النازعات: چڃ ڃ چ چ چ ٹ ٹ چ
{Nze katonda wamwe owaawaggulu, (musa gweyabadde
ategeeza)}
القصص: چڃ ڃ ڃ چ چ چ چ ڇ ڇ ڇ گ ٹ ٹ چ و
٣٨
Era (falaawo) n'agamba: {abange abantu bange
sibamanyiddeeyo katonda mulala atali nze}.
23
Newankubadde falaawo yabyogera naye yali tabikkiririzaamu.
Allah y'agamba:
١٤النمل: چڀ پٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پٹ ٹ چ ''
{Nebawakanya (falaawo nebanne) obubonero obulaga
okubeerawo kwa Allah, naye nga emyoyo gyabwe gisigadde
gikakasa nti byebalimbisa bituufu, mukukola ekyo nga
bulyazamaanyi (eri katonda wabwe n'eri emyoyo gyambwe)
nakwekuza kumazima nekubitonde}.
Era musa n'agamba falaawo nga Allah bwatunyumiza:
ۋ ۋ ۅ ۅ ۉ ۉ ې ې ې ې ى ى ائ ٹ ٹ چ
٠٢١اإلسراء: چائ ەئ ەئ
{Mazima ddala okimanyi nti tewaliiwo assa bubonero buno
okujjako omulezi wamagulu omusaanvu nensi nga bujulizi era
nga bubonero obulaga obuyiinza bwe n'obwomubwe
mukusiinzibwakwe eri abaddu be, era mazima ddala nze
nkakasa nti gwe Falaawo (olwokubuwakanya) oli mubazikiridde
era abafafaaganiddwa}.
Nekulwensonga eyo baali abashiriku bakkiririza
mubwakatonda bya Allah newankubadde nga baali bamugattako
ebintu ebirala mukumusinza. Allah y'agamba:
ۋ ۋ ٴۇۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ۇ ۇ ۆ ۆ ۈ ۈچ ٹ ٹ
وئ ەئۅ ۅ ۉ ۉ ې ې ې ې ى ى ائ ائ ەئ
وئ ۇئ ۇئ ۆئ ۆئ ۈئ ۈئ ېئ ېئ ېئ ىئ ىئ ىئ ی ی ی
٨٩ – ٨٤المؤمنون: چيئ جب حب خب ىئی جئ حئ مئ
24
{Gamba (gwe Muhammad ''s.a.w'') nti ani yakola ensi
nebigirimu bwemubanga mumanyi, bajjakugamba nti bya Allah,
gamba abaffe kati lwaki temwejjukiza, gamba nti ani mulezi
wamagulu omusanvu nebyo byonna ebigalimu, era omulezi wa
Namulondo eyekitiibwa, bajjakugamba (kukakasa) nti byonna
Allah yemulezi wabyo, abaffe kati lwaki temutya kusiinza bitali
Ye, gamba nti ani alina mumukono gwe obufuzi bwabuli kintu
kyonna, nga yakuuma ate nga ye takuumibwa bwemubanga
mumanyi, bajjakugamba nti Allah, gamba nti kati lwaki mulinga
abaloge nemusalawo okusiinza ebitali ye}.
Era Allah n'agamba:
چڭ ۇ ۇ ۆ ۆ ۈ ۈ ٴۇ ۋ ۋ ۅ چ ٹ ٹ
٩الزخرف:
{Bwonooba nga obabuuzizza nti ani yatonda eggulu nensi,
bajjakugamba nti Allah owekitiibwa omumanyi yeyabitonda}.
Era Allah n'agamba:
٨٧الزخرف: چېئ ېئ ىئ ېئۇئ ۇئ ۆئ ۆئ ۈئ ۈئچ ٹ ٹ
{Era bwonobabuuza nti ani yabatonda, bajjakugamba nti Allah
kakati lwaki ate bava kukumusinza nebasinza ebitali ye?}.
ekiragiro ky'omuleze (Allah) kibuna ensonga zensi yonna,
nabwekityo ebyeddiini, nga bwekiri nti yagifuga
n'okugitambuza, wamu n'okugiteekateeka, akola muyo
okusinziira nga bwaba ayagadde, Era alamula muyo
mukuteekawo engeri y'okumusiinza, n'amateeka agafuga
embeera z'abaddu be, okusiinzira kuki ekisinga okuba ekiruungi
gyebali, oyo yenna gwekatanda nateekawo omuwi webiragiro
namateeka mukusiinza ebitali Allah, oba omulamuzi kumbeera
ze omulala atali Allah, aba agasse ku Allah nekintu ekirala era
aba nga tatuukirizza bukkiriza.
25
Ekyokusatu: okukkiriza okusinzibwaakwe. (Okukkiriza nti
alyomu, tewali katonda mulala asiinzibwa mubutuufu okujjako
ye, era yemutoonzi wabuli kimu talina kimwegattako
mubwakatonda bwe nemukusiinzibwa kwe), nga nekigambo
Allah kitegeeza oyo owawaggulu asiinzibwa mukwagala
n'okumugulumiza, Allah y'agamba:
١٦٣البقرة: چحئ مئ ىئ يئ جب حب خب جئی ی یچ ٹ ٹ
ڦ ڄ ڄ ڄ ڦٹ ڤ ڤ ڤ ڤ ڦ ڦ ٿ ٿ ٹ ٹ ٹ ٹ ٹ چ و
١٨آل عمران: چڄ ڃ ڃ
{Omusiinzibwa wammwe alyomu, tewaliiwo ateekedwa
kusiinzibwa mubutuufu okujjako ye omusaasizi ennyo era
owekisa ekiingi}.
Era Allah n'aganba:
{Allah ajulira nti mazima ddala tewaliiwo kisiinzibwa
mubutuufu okujjako ye, nebamalayika be bajulira kwekyo,
bwebatyo nebannanyini kumanya, ayimiridde kubwenkanya
(okubanga yasiinzibwa) tewaliiwo kisiinzibwa mubutuufu
okujjako ye owekitiibwa ateeka buli kintu mukifo kyakyo}. Nabuli yenna ateekawo ekisiinzibwa ekirara ekitali Allah,
okukkiriza kwe mukusiinza Allah kuba kufu. Allah yagamba:
ہ ہ ھ ھ ھ ھ ے ے ۓ ۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ٹ ٹ چ
٦٢الحج: چۇ ۇ ۆ ۆ
{Ddala kiri bwekityo kubanga Allah ye w'amazima, nabuli
kyonna ekisiinzibwa ekitali ye, kisiinzibwa mubukyamu, Era
mazima ddala Allah yewaawaggulu asinga buli kintu kyonna}.
Nabyonna ebitali ye, okubiyita ebisiinzibwa tekibifuula nti
bwebirina okusiinzibwa. Allah yagamba ku (allaata, mannaata,
ne uzza):
26
النجم: چىئ ەئۉ ې ې ې ې ى ى ائ ائ ەئۅ ۅ ۉ چ ٹ ٹ
٢٣ ''
{Tebiri ebyo byemusiinza (nga ategeeza, allaata, manaata, ne
uzza) okujjako mannya bunnya gemwetuumira mwe ne
bakitamwe, Allah tabissangako bujulizi}.
Allah atunyumiza ku yusuf nti yagamba banne ababiri beyali
nabo mukkomera:
ڦ ڦ ڦ ڦ ڄ ڄ ڄ ڄ ڃ ڃ ڃ ڃ ٹ ٹ چ
چڱ ڎچ چ چ چ ڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ ڎ
٤٠ - ٣٩يوسف:
{Basibe bannange, bakatonda abaangi bebasinga obuluungi, oba
Allah omu omukasi, temusiinza ebyo ebitali ye okujjako
mannya bunnya gemwetuumira mwe ne bakitamwe, Allah
tabissangako bujulizi}.
N'olwekyo baali ababaka ba Allah bonna (okusaasira kwa Allah
kube kubo) bakowoola abantu baabwe nebabagamba nti:
٨٥األعراف: چڱ ڇڃ چ چ چ چ ڇ ڇ چ ٹ ٹ
{Musinze Allah, temulinaayo musiinzibwa mulala okujjako
ye}.
wabula abashiriku baagana, nebasalawo okuteekawo
ebisiinzibwa ebirala ebitali Allah, nebabasiinza nga wamu naye,
nebabasabanga okubataasa mubuzibu, wamu n'okubalaajanira
nga Naye Allah yamenyawo ekya bashiriku okuteekawo
ebisiinzibwa ebirala ebitali ye n'obujulizi obwamagezi
bwamirundi ebiri:
Obusooka: Mazima Ddala ebisiinzibwa ebirala byebaatekawo
tebirinaayo kintu kyonna kyebirina kyeyawulidde
mubwakatonda, byo byennyini bitonde byatondebwa, tebirina
27
kyebyaali bitonze, era tebisobola kubaako mugaso gwonna
gwebiyinza kukolera babisiinza wadde okubataasa mubuzibu,
oba okubawa obulamu wadde okubatta, tebirina bufuzi kukintu
kyonna muggulu nemunsi wadde okubaamu n'omugabo.
Allah y'agamba:
ٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ڀ ڀ ٹ ٹ چ
٣الفرقان: چٺ ٺ ٺ ٺ ٿ ٿ ٿ ٿ ٹ ٹ
{Nebateekawo mukifo kye (Allah) ebisiinzibwa ebilala ebitali
ye, naye nga tebisobola kutonda kantu konna wabula nga nabyo
byatondebwa butondebwa, tebisobola kwetuusako buzibu wadde
okwetuusako omugaso gwonna, era sibyebifuga okufa,
newankubadde obulamu wadde okuzuukira} wabula byonna biri
mubuyinza bwa Allah.
Era Allah n'agamba:
ېئ ېئ ىئ ىئ ىئ ی ېئوئ ۇئ ۇئ ۆئ ۆئ ۈئ ۈئچ ٹ ٹ
ٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ ی ی ی جئ حئ مئ ىئ يئ جب حب خب مب ىب يب
٢٣ - ٢٢سبأ: چڤ پپ پ
ں ڻ ڻ ڻ ڻ ۀ ۀ ہ ہ ہ ہ ھ ھ ھ چ ٹ ٹ و
١٩٢ - ١٩١األعراف: چھ ے
{Gamba (owange gwe Muhammad) mukowoole ebyo
byemugamba nti bisiinzibwa wamu ne Allah, tebilina bufuzi ku
kantu konna kakabe kanyinkuuli (akantu akasembayo obutono)
muggulu wadde munsi, Era tebabirinaamu mukono
(mukutondebwa kweggulu nensi), Era Allah talina mubyo
muyambi, n'okuwolereza tekugasa gyali okujjako oyo gwaba
akkirizza}
28
Era n'agamba: {Abaffe bagatta ku Allah ebyo ebitasobola
kutoonda kantu konna, Era nga nabyo byatondebwa
butondebwa! Era tebisobola kubataasa wadde byo okwetaasa}.
Bwebanga eyo y'embeera yebyo ebiteekebwawo okusiinzibwa
ebitali Allah, (okuba nti bitonde, binafu byetaavu) Mazima
okubifuula ebisiinzibwa, kyabubuya buya obwekika
ekyawaggulu, era kifu bweffuffululu.
Obwokubiri: Mazima abashiriku bakakasa nti Allah yekka
yemulezi, omutonzi, era y'alina obufuzi mumukono gwe kubuli
kintu kyonna, n'olwekyo kyali kibakakatako okumwawula
mukumusiinza, nga bwebaamwawula mubulezi bwe, nga Allah
bweyagamba:
ڱ ڱ ں ں ڻ ڻ ڻ ڻ ۀ ۀ ہ ہ ہ ٹ ٹ چ
ۆہ ھ ھ ھ ھ ے ے ۓ ۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ۇ ۇ ۆ
٢٢ - ٢١البقرة: چۈ ۈ ٴۇ ۋ ۋ ۅ ۅ
٨٧ الزخرف: چېئ ېئ ىئ ېئۇئ ۇئ ۆئ ۆئ ۈئ ۈئٹ ٹ چ
{Abange mwe abantu musiinze omulezi wamwe (Allah) oyo
eyabatonda naabo abaabasookawo, mulyoke mubeere abamutya,
oyo Allah eyabafuulira ensi omwaliiro, neggulu nga muziimbo,
n'atonyesa enkuba, n'ameza nayo ebimera nga kugabirira
kummwe, kalenno temugattanga ku Allah ebintu ebirala
(nemubisiinza nga bwemumusiinza) nga namwe mumanyi (nti
talina kimwegattako mukutonda nemukugabibirira, wamu
nemukuteekateeka)}.
Era n'agamba Allah: {Bwonooba obabuuzizza ani yabatonda?
bajjakugamba nti Allah, kaakati lwaki ate bamulekawo
nebaiinza ebitali ye}.
Era n'agamba:
29
ۆ ۈ ۈ ٴۇ ۋ ۋ ۅ ۅ ۉ ۉ ې ې ې ې ٹ ٹ چ
ۈئ ۈئ ېئ ېئ ېئ ىئ ۆئۇئ ۆئ ۇئى ى ائ ائ ەئ ەئ وئ وئ
٣٢ - ٣١يونس: چىئ يئ جب مئی ی ی جئ حئ یىئ ىئ
{Gamba (owange gwe Muhammad) ani abagabirira okuva
muggulu ne munsi, oba ani afuga okuwulira n'okulaba, era ani
ajja ekiramu mukifu, Era n'ajja ekifu mukiramu, era ani
ateekateeka ebintu byonna (muggulu ne munsi), bajjakugamba
nti Allah (yakola ebyo byonna) gamba abaffe kati lwaki
temutya, (nemumutongoza mukusiinzibwa kwe oluvannyuma
lwokumanya nti ebyo bonna y'abikola) oyonno yemusiinzibwa
wamwe omulezi wamwe owa Mazima, Kati lwaki mubula
oluvannyuma lwokutegeera amazima, era ngeri ki jemukyuuka
nemutasiinza oyo gwe mutegedde obujjuvu bwe}.
Ekyokuna: okukkiriza amannya ga Allah nebitendo bye:
(okukakasa ku Allah ebyo byeyekakasaako mukitabo kye Qura'n
nemu Sunna za Nabbi (s.a.w) mumannya nebitendo, mumbeera
esaanidde kuye, nga tetukyusizza, oba okumujjako, oba
okugerageranya, oba okufaananyiriza), Allah y'agamba:
ڇ ڇ ڇ ڇڃ چ چ چ چ ڃڄ ڄ ڄ ڃ ڃچ ٹ ٹ
١٨٠األعراف: چڍ ڍ
{Ga Allah amannya agasiinga obuluungi, mumusabe nago,
muleke abo abakyusa kyusa amannya ge bajja kusasulwa ebyo
byonna byebaali nga bakola}.
Era n'agamba:
٢٧الروم: چڇ ڇ ڇ ڇ چڃ ڃ ڃ چ چ چ چ ٹ ٹ ''
30
{Era bibye ebitendo ebijjuvu muggulu nemusi, Era
yewekitiibwa owamagezi (ateeka buli kintu mukifo kyakyo)}.
Era n'agamba:
١١الشورى: چٿ ٹ ٹ ٹ ٿٺ ٿ ٿ چ ٹ ٹ
{Talina kintu kyonna kimufaanana (Allah) Era ye awulira
n'okulaba ennyo}.
Kusonga eyo abantu baabibinja bibiri baabula:
Ekibinja ekisooka: Abagajjawo: bawakanya amannya ga Allah
nebitendo bye, oba ebimu kubyo, nga beekwasa nti
okubimukakasaako Allah kireetera okumufaananya nebimu
kubitonde bye. Naye ekyekwaso kyabwe kifu olwensonga zino
wammanga.
Esooka: okuba nti kiviirako ebyetteeka ebikyamu, nga
okkontana mubigambo bya Allah, kubanga Allah yeekakasaako
amannya nebitendo, Era neyeekakasaako nti talina kimufaanana,
singa okumukakasaako ( amannya nebitendo) kiviirako
okumufaananya ebitonde bye, wandibadde wo okkontana
mubigambo bye, n'ebimu kubigambo bye okulimbisa ebirara.
Eyokubiri: sikyatteeka nti ebintu ebibiri singa bifaanaganya
erinnya oba ekitendo, okuba nti bifaanagana. osobola okulaba
abantu babiri nga bakwatagana okuba nti bonna bantu abalaba,
ab'awulira era aboogera, naye ekyo tekitegeeza nti bafaanagana
mumakulu g'obuntu, n'okulaba, n'okuwulira wadde okwogera,
Era olaba ebisolo birina emikono n'amagulu n'amaaso, naye
ekyo tekitegeeza nti okkwatagana kwabyo okwo, okuba nga
emikono gyabo, n'amagulu, n'amaaso bifaanagana, wabula buli
kimu kyefaanana kyokka mungeri yakyo.
Bwewamala okweyoleka enjawulo wakati w'ebitonde ebirina
ebiyungo byebifaanaganya mumannya n'ebitendo, ate enjawulo
wakati w'omutonzi n'ebitonde neyolefu nnyo.
31
Ekibinja Ekyokubiri: Abamufananya nebitonde abo bakakasa
amannya ga Allah n'ebitendo bye naye nga babifaanaganya
n'ebyebitonde, nga bagamba nti ekyokubifaananya nebyebitonde
kituukagana buluungi n'ebwawandikibwa ebitukuvu mu quran
nemunjigiriza ya Nabbi (s.a.w), kubanga nti Allah ayogera
nabaddu be nebyo byebategeera, era byebamanyi. Nayenno
endowooza eyo nfu olwensonga zino wammanga:
Esooka: okufaananya Allah nebitonde bye, kikyamu, oba kifu
nyo era n'amagezi tegakikkiriza, nabwekityo ebyawandikibwa
ebitukuvu, ate nga amakulu gebyawandikibwa mukitabo
(Qura'n) ne Sunna za Nabbi (s.a.w) tebisobola kuba bikyamu
oba bifu.
Eyokubiri: Mazima Allah yayogera n'abaddu be kwebyo
byebategeera mumakulu agaabulijjo (okusobola okufuna
ekigendererwa mubigambo bye) naye nga mumazima obutuufu
bw'amakulu agaddala, byebimu ku Allah byeyesigaliza
mubikwata ku bwennyini bwe, nebitendo bye.
Kati Allah bweyeekakasaako okuwulira, ekyo kitegeerekeka
mumakulu agabulijjo, naye nga obutuufu bwokuwulira Kwa
Allah ffe nga abantu tetukumanyi, kubanga n'obutuufu
bw'okuwulira nemubantu bwawukana. Kati ebitonde bwebiba
nga bwawukana mwebyo byebifaanaganya, ate okwawukana
wakati w'omutonzi nebitonde kweyolefu nnyo.
Era Allah bweyeekakasaako nti ateredde ntende kunnamulondo
ye, okutereera okwo kumanyiddwa mumakulu agaabulijjo, naye
obutuufu n'engeri gyatereddemu tewali agimanyi okujjako ye,
kubanga obutuufu byokutereera bwawukana nemubantu, kati
okwawukana wakati w'omutonzi n'ebitonde kweyolefu nnyo.
Okukkiriza Allah nga bwetunyonnyodde kiwa
abakkiriza ebibala bino wammanga:
Ekisooka: okutuukiriza n'okunyweza okwawula Allah,
okutuuka okubanga omuddu talina gwasuubila kumumalira
32
byetaago bye okujjako Allah, era nga tatya kitali ye, wadde
okusiinza ekintu ekirala kyonna ekitali ye.
Ekyokubiri: okufuna okwagala Allah okujjuvu,
n'okumussamu ekitiibwa okusiinziira kumannya ge amalungi
n'ebitendo bye ebyawaggulu.
Ekyokusatu: okutuukiriza okumusiinza, nga okola
byeyalagira n'okwewala ebyo byeyagaana.
OMUSINGI OGWOKUBIRI: OKUKKIRIZA
BAMALAYIKA.
Malayika: bitonde bya Allah ebyekusifu, (tetusobola
kubiraba), tezirina kakwate konna mubulezi bya Allah, wadde
okusiinzibwa, Allah yazitonda mumuliro, n'aziwa obugoonvu
obujjuvu kubiragiro bye n'amanyi agenjawulo mukubiteeka
munkola. (Zisiinza Allah nga bwayagala, era tezimujeemera
mukintu kyonna kyaba aziragidde). Allah y'agamba:
ہ ہ ہ ھ ھ ھ ھ ے ہڻ ڻ ڻ ۀ ۀچ ٹ ٹ
٢٠ - ١٩األنبياء: چے ۓ ۓ ڭ ڭ ڭ ڭ
{Era bibye ebiri muggulu nemunsi n'abo abali gyali
(bamalayika) tebeekuza kukumusiinza era tebeekaanya
(olwobujjuvu bwokwagala kwabwe eri Allah), batendereza
ekiro nemisana, era nga tebakoowa}.
Omuwendo gwazo munene nyo era tewali ayinza kugumanya
okujjako Allah, era kyakakata mubitabo ebituufu ebibiri (ekya
bukhar ne musirim) muhadith ya anas ibn maalik (Allah yasiima
kubo) mukyafaayo kyolugendo lwokutwalibwa kwa Nabbi
(s.a.w) muggulu (Israa wal miraaj), nti Nabbi yabuusibwa
waggulu wenyumba eyekitiibwa esaalirwamu buli lunaku
bamalayika emitwalo musanvu (70,000), atenga abamala
33
okusaala tebadda. Ekyo kitegeenza nti omuwendo gwazo
munene nnyo.
Okukkiriza ba Malayika kuzingiramu ebintu bina:
Ekisooka: okukkiriza okubaawo kwabwe.
Ekyokubiri: okukkiriza erinnya lyeyo lyetutegedde muzo
erinnya (nga jibriir) Era nejetutategedde linnya tugikkiriza nti
jeeri.
Okyokusatu: okukkiriza ebikitendo byeyo byetutegedde muzo
mubitendo, (nga ebitendo bya jibriir) Nabbi (s.a.w) yagamba nti
yagiraba mukiti kyeyatoondwamu nga erina ebiwawaatiro
lwenda (900) nga bibisse obwengula.
Malayika esobola kulw'obuyinza bwa Allah okukyuka nedda
mukifaananyi kyo'muntu, nga bwekyali ku jibriir Allah
bweyagituma eri Mariam (maama wa Nabbi Isa) nemulabikira
mukifaananyi ky'omusajja, mungeri yemu yajja eri Nabbi
(s.a.w) bweyali nga atudde mubaswahaba be, yajja
mukifaananyi kyomusajja nga mweru nyo, nga nengoye ze njeru
nyo, nga nenviiri ze nzirugavu nyo, talabikako kabonero
kalugendo konna, era nga tewali n'omu amumanyi
mubaswahaba, kyeyava atuula ewali Nabbi (s.a.w) neyenkanya
nkanya amaviivige kumaviivi ga Nabbi n'ateeka emikono gye
kubisambi bye, n'amubuuza kubusiraam, n'obukkiriza,
n'okweyisa obuluungi, nekulunaku lwenkomerero,nobubonero
bwalwo.Nabbi (s.a.w) namwanukula bweyamaliriza n'agenda
(jibriir), oluvannyuma Nabbi (s.a.w) yagamba baswahaba nti
oyo abadde jibriir abajjidde abayigirize eddiini yamwe. Ebyo
bili mukitabo kya musilimu.
Nabwekityo bamalayika Allah beyatuma eri Nabbi Ibrahiim
(a.s.w) wamu ne Nabbi Luutu (a.s.w) baali mukifaananyi
kyabasajja.
Ekyokuna: okukkiriza emirimu gyezo jetutegedde jezikola
kulwekiragiro kya Allah, okugeza nga okuteendereza,
34
n'okumusiinzanga ekiro n'emisana awatali kukoowa wadde
okwekaanya.
Era ezimu kuzo zirina emirimu ejeyawulidde jeziri:
Okugeza nga Jibriir omwesigwa eri obubaka bwa Allah, nga
Allah agitikka obubaka nebuleetera ababaka nebanabbi be.
Ne Mikayiri Allah yajikwasa obuvunaanyizibwa
obwokutonnyesa enkuba nebirime.
Ne Israfiir, eyina omulimu gwokufuuwa engombe,
enkomerero bweriba nga etuuse, nokuzuukiza ebitonde.
Ne Malayika walumbe, alina obuvunaanyizibwa bwokujjamu
emwoyo mukiseera kyokufa nga kituuse.
Malayika ekuuma n'okuteekateeka omuliro.
Ne Malayika ebbiri ezivunaanyizibwa kubaana abali
mumbutu (zabannyabwe), omwana bwaweza emwezi ena
mulubuto lwannyina Allah asindika Malayika nagiragira
ewandiike riziki ye, obuwangazibwe, nemirimu gye, era
an'abeera wakwesiima oba kufafaaganirwa.
Ne Malayika ezivunanyizibwa okukuuma nokuwandiika
emirimu gy'abaana b'adam kubuli muntu. Era nga ziri biri emu
yakumukono ogwadyo ate endala ya kukkono.
Ne malayika ezivunanyizibwa okubuuza omufu, omuntu
bwaba nga amaze okuteekebwa muntaana ye Malayika biri
zimujjira nezimubuuza ku mulezi we (katondawe) neddiini ye
nekunabbi we.
Okukkiriza ba Malayika kurina ebibala bino wammanga:
Ekisooka: Okumanya obukulu bwa Allah, namaanyi ge,
n'obuyinza bwe, kubanga obukulu, n'obuzito, n'amaanyi
gekitonde, galaga obukulu, n'obuzito n'amaanyi by'omutonzi
wakyo.
35
Ekyokubiri: Okwebaza Allah olwokufaayo kwe eri abaana
b'adamu, bweyaddira abamu kubamalayika n'abawa
obuvunaanyizibwa okugeza nga okubakuuma, okuwandiika
emirimu gyabwe, nebirala ebiringa ebyo ebiriwo kulwobuluungi
bwabantu.
Ekyokusatu: Okwagala ennyo bamalayika olw'omulimu
omunene gwebakola ogwokusiinza Allah.
Wabula abamu kubaabula bawakanya ekyaba Malayika okuba
nemibiri, nebagamba nti, Malayika, tezirina mubiri wabula ziri
mumbeera ya maanyi amaluungi agava mubitonde. Naye nno
ekyo kibaleetera okulimbisa ekitabo kya Allah (Qura'n)
nebigambo by'omubaka Muhammad (s.a.w) n'okwegatta
kwabasiramu (kukubanga Malayika zirina omubiri).
Allah y'agamba mu Qura'n:
ھں ڻ ڻ ڻ ڻ ۀ ۀ ہ ہ ہ ہ ھ ھٹ ٹ چ
١فاطر: چۆ
{Amatendo ga Allah, oyo omutandisi weggulu nensi, eyafuula
bamalayika nga babaka, bannanyinni biwawaatiro bibiri,
n'ebisatu, n'ebina}.
Era n'agamba:
ۇ ۇ ۆ ۆ ۋ ڭے ۓ ۓ ڭ ڭ ڭچ ٹ ٹ
٥٠األنفال: چ
{Oliraba mukiseera ekyo bamalayika bwebaliba batta abo
abaajemera amateeka ga Allah, nga zibakuba ebyenyi byabwe
nemigongo gyabwe}.
Era nagamba:
36
ڭ ڭ ڭ ۇ ۇ ۆ ۆ ۈ ۈ ٴۇ ۋ ٹ ٹ چ
٩٣األنعام: چۇئ ۅۋ
{Oliraba mukiseera ekyo abalyazaamanya bwebaliba nga bali
kumugo gwentaana, nga bamalayi banjuluzza emikono gyabwe
nebabalagira okujjamu emyoyo gyabwe}.
Era n'agamba:
چٹ ٹ ٹ ڤ ٹٿ ٿ ٿڀ ڀ ڀ ڀ ٺ ٺ ٺ ٺ ٿ ٹ ٹ چ
٢٣سبأ:
{Okutuusa bwebaliba nga okukaankana n'okutya kuvudde
mumitima gyabwe (olwokuwulira ebigambo bya Allah)
balyebuzaganya nti kiki ky'agambye omulezi wammwe? Bajja
kugamba nti mazima (mukuwolerezebwa) ate nga ye
waawaggulu asiinga era nga buli kintu kyonna kiri wansiiwe}.
Era n'agamba kubantu bomujjana (enyumba eyemirembe):
چڻ ۀ ۀ ہ ڻڳ ڳ ڳ ڱ ڱ ڱ ڱ ں ں ڻ ڻ چ ٹ ٹ
٤٢ - ٢٣الرعد:
{Nti nebamalayika bajjakuba nga bayingira jebali mubuli
mulyango, ngababagamba emirembe gibeere jemuli olwebyo
byemwaguminkiriza musasudwamu enyumba eyemirembe}.
Ne muswahiih bukhar hadiith nga eva ku abu huraira nga agijja
ku Nabbi (s.a.w) y'agamba nti:
" إذا أحب هللا العبد, نادى جبريل أن هللا يحب فالنا فأحبه, فيحبه جبريل,
فينادى جبريل في أهل السماء أن هللا يحب فالنا فأحبوه, فيحبه أهل السماء,
ثم يوضع له القبول في األرض "
(Allah bwayagala omuntu, okowoola jibriir n'amugamba nti
Mazima Allah ayagala gundi n'awe mwagale, jibriir
n'amwagala, oluvannyuma jibriir naye akowoola mubanannyini
ggulu (ba Malayika banne) nti Allah ayagala gundi namwe
37
mumwagale nabo nebamwagala, oluvannyuma Allah omuddu
oyo n'amuteera omukisa n'okwagalwa munsi).
Era mubitabo ebyo (ekya bukhar ne musirimu) mulimu nti
Nabbi (s.a.w) y'agamba:
كان على كل باب من أبواب المسجد المالئكة يكتبون إذا كان يوم الجمعة"
األول فاألول, فإذا جلس اإلمام طووا الصف, وجاءوا يستمعون الذكر"
(Olunaku lwe jumah bwerutuuka, bamalayika bajja kubuli
mulyango mumiryango gy'omuzikiti nebawandiika (abazze
okusaala) asoose okujja naddako okutuusa Imaam lwavaayo
n'alinnya ekituuti bajja nebatuula munyiriri nebawuliriza
okujjukizibwa (khutuba).
Obwo bwonna obujulizi mubyawandikibwa bulambika
buluungi nti bamalayika balina emibiri sossi maanyi agali
mumakulu nga bwebagamba abo abaabula. Nekulwamakulu
agali mu byawandikibwa ebyo abasiraamu beegatta kukigamba
nti bamalayika balina emibiri.
OMUSINGI OGWOKUSATU: OKUKKIRIZA EBITABO.
Biyitibwa Ebitabo singa biba binji, ate bwe kiba kimu kiyitibwa
kitabo, nga kitegeeza ekiwandikidwa.
Nga nekitegendererwamu wano, byebitabo ebyo Allah byeyassa
kubabakabe nga kyakusaasira eri ebitonde, n'okubalungamya
basobole okutuuka mubulamu obwokwesiima wano kunsi
nekunkomerero.
Okukkiriza ebitabo kizingiramu ebintu bina:
Ekisooka: Okukkiriza nti okussibwa kwabyo okuva eri Allah
kw'amazima.
Ekyokubiri: Okukkiriza erinya lyetutegedde mumanya gabyo
nga Qura'n eyassibwa kuwekitiibwa Nabbi Muhammad (s.a.w),
Tauraat eyassibwa ku Nabbi Muusa (a.s.w), Enjiri (Bayibuli)
38
eyassibwa ku Nabbi Isa (a.s.w), Zabbuli eyaweebwa Nabbi
Dauda (a.s.w), nebyo byetutategedde mannya gabyo
tubikkiririzaamu okutwalira wamu (mumbeera yakitole).
Ekyokusatu: Okukakasa ebyajjiramu nti Mazima, nga
ebitunyumizibwa mu Qura'n, nebyo ebitunyumizibwa mubitabo
ebyasooka ebitaakyusibwa oba okubuzabuzibwa.
Ekyokuna: Okkolera kumateeka agalimu kasita gabeera nga
tegaakyusibwa oba okusiimuulwa, okwo saako okugasiima
wamu n'okwewaayo gatulamule, sinsonga tutegedde
ekigendererwa ekyekusifu mugo oba tetukitegedde, era tulina
okukimanya nti ebitabo byonna ebyasooka okussibwa okuva
muggulu, okulamula kwabyo kwasiimulwawo n'okukka kwa
Qura'n eyekitiibwa. Allah y'agamba:
ژڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ ڎ ڎ ڈ ڈ ژٹ ٹ چ
٤٨المائدة: چۆ
{Twassa gyooli ekitabo (Qura'n) mumazima, era nga kijjudde
mazima, nga kikakasa ebitabo ebyo ebyakikulembera (nga
tawraat ne njiri) era nga kiramuzi ekisengezzi kubyo}
N'olwekyo tetukkirizibwa kukolera kutteeka lyonna mumateeka
agali mubitabo ebyasooka okujjako ettuufu era eryamazima
mugo ate nga Qura'n yalikakasa.
Okukkiriza ebitabo kulina ebibala bino wammanga:
Ekisooka: Okumanya okufaayo enyo Kwa Allah eri abaddu
be, bweyassa ekitabo eri kubuli kibinja kyabantu (oba kubuli
mulembe), basobole okulungama nakyo.
Ekyokubiri: Okumanya obukenkufu bwa Allah
mukuteekateeka amateekaage, byeyawa buli kibinja ky'abantu
amateeka agabasaanidde okusiinziira kumbeera yabwe. Nga
Allah bweyagamba:
39
٤٨المائدة: چۆ ںڱ ڱ ڱ ڱ ںٹ ٹ چ
{Buli (kibinja ky'abantu) mummwe twabateerawo amateeka
n'enkola eyokugobererwa (basobole okulungamizibwa)}.
Ekyokusatu: Okwebaza ebyengera bya Allah mwekyo.
OMUSINGI OGWOKUNA: OKUKKIRIZA ABABAKA.
Ababaka nga baangi, omu ayitibwa mubaka (omutume), nga ye
muntu atumiddwa awantu okubaako kyatuusawo. Naye amakulu
agagendererwamu wano, yemuntu assiddwako obubaka nga
bwamateeka oba biragiro okuva eri Allah okubaako jabutuusa
mubaddu be.
Omubaka eyasooka bamuyita Nuuh (a.s.w), nga n'asembayo
ye Muhammad (s.a.w). Allah yagamba mu Qura'n:
١٦٣النساء: چڤ ڀٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ٱٹ ٹ چ
{Mazima ddala twassa kugwe (Muhammad) ekitabo (Qura'n)
nga bwetwakissa ku Nuuh neba Nabbi abalala oluvanyuma lwe
(Nuuh)}.
Ate mu swahih bukhar hadith nga eva ku Anas ibn maalik
(Allah yasiima kuye) nti Nabbi Muhammad (s.a.w) yagamba mu
hadiith ekwata kukuworereza abantu kulunaku lw'enkomerero:
ويقول ائتوا نوحا أو لرسول بعثه أن الناس يأتون إلى آدم ليشفع لهم فيعتذر إليهم"
هللا, وذكر تمام الحديث "
(Nti mazima abantu bagenda kujja eri Adam bamusabe
abawolereze ewa Allah, abeetondere (olwobutasobola
kubawolereza) amale abagambe nti mugende ewa Nuuh, oba
ew'omubaka (Muhammad) oyo Allah gweyatuma…………..)
Okutuuka hadiith jekoma.
40
Era Allah n'agamba:
چىئ ۆئې ى ى ائ ائ ەئ ەئ وئ وئ ۇئ ۇئ ۆئٹ ٹ چ
٤٠األحزاب:
{Muhammad (s.a.w) tabeerangako kitaawe w'omu mubasajja
mumwe, wabula mubaka wa Allah, era nga yewenkomerero
muba Nabbi}
Era tewali kibiina kyabantu okujjako nga Allah yakitumira
omubaka n'amateeka amapya nga geyawulidde jekiri. Oba
Nabbi Allah gweyassaako amateeka geyassa ku mubaka
eyamusookawo asobole okugazza obujja. Allah y'agamba:
چگ ڇڄ ڄ ڃ ڃ ڃ ڃ چ چ چ چ ڇچ ٹ ٹ
٣٦النحل:
{Mazima twaatuma mubuli kibiina kyabantu omubaka, ategeeze
abantu be okusiinza Allah, n'okwewala ebyo byonna
ebisiinzibwa ebitali Allah}.
Era Allah n'agamba nti:
٤٢فاطر: چڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ ٹ ٹ چ
{Tewali gwanga oba kibiina kayabantu kyonna okujjako nga
kyalimu omutiisa (Omubaka)}.
Era n'agamba nti:
ڈ ڈ ژ ژ ڑ ڑ ڎڇ ڍ ڍ ڌ ڌ ڎٹ ٹ چ
٤٤المائدة: چھ ک
{Mazima twassa Tawuraat (eri Muusa ''a.s.w'') nga erimu
oburungamu (eri obukkiriza n'amazima, n'okubatangira
obubuze), wamu n'ekitaangala, balamuza nayo ba Nabbi abo
abajemulukukira amateeka gange eri abayudaaya}.
41
Ababaka ba Allah nabo bantu ab'atondebwa obutondebwa era
tebalina kakwaate konna mwebyo ebyeyawulidde mubulezi bwe
(Allah) wadde okusiinzibwa.
Allah y'agamba omubaka Muhammad (s.a.w) ate nga ye mukulu
wababaka bonna (era owenkizo mubo) nti:
ڀ ٺ ٺ ٺ ڀٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀٹ ٹ چ
األعراف: چٹ ٹ ڤ ڤ ڤ ڤ ڦ ڦ ٹٺ ٿ ٿ ٿ ٿ ٹ
١٨٨
{Gamba (owange gwe Muhammad) nti sirina buyinza kumwoyo
gwange okugugasa n'ekintu kyonna wadde okugutuusako
obuzibu, okujjako ekyo Allah kyaba ayagadde, Era mbakuba
nga manyi ebyekweese nandifunye ebiruungi era
sandituukiddwako kabi kona, sirina kyendi (ewa Allah) okujjako
omusanyusa era omutiisa eri abantu abakkiriza}.
Era Allah n'agamba:
گ گ ڳ ڳ ڳ ڳ ڱ ڱ ڱ ڱ ں ں ڻ ڻ ڻ ڻ ۀ ۀ ہ ہ ٹ چ
٢٢ - ٢١الجن: چہ ہ
{Gamba (owange gwe Muhammad) nti sirina buyinza kumwe
kubatuusaako buzibu wadde okubalungamya, gamba nti
tewaliiwo n'omu ayinza kuntaasa eri Allah, era siyinza kufunayo
bukkukiro bulala etali ye (Allah) okkuuma omwoyo gwange}.
Era nga ababaka batukibwako ebyo byonna ebituuka kubantu
nga okulwala, okufa, obwetaavu eri okulya nokunywa, nebirala
ebiringa ebyo. Kyova olaba Allah yagamba (muqura'n) nga
atunyumiza ku Nabbi Ibrahiim (a.s.w) bweyali nga atenda Allah
we:
42
ائ ەئ ەئ وئ وئ ۇئ ۇئ ۆئ ۆئ ۈئ ۈئ ېئ ېئ ٹ ٹ چ
٨١ - ٧٩الشعراء: چېئ ىئ
{Era yooyo (Allah) andiisa (angabirira ebyokulya),
nebyokunywa, nebwemba nga lwadde y'amponya, era yajja
okunzita (ekiseera kyange bwekinaaba nga kituuse) era yajja
okunzukiza kulunaku lwenkomerero}.
Ne Nabbi Muhammad (s.a.w) y'agamba:
(سى كما تنسون فإذا نسيت فذكرونينإنما أنا بشر مثلكم أ)
(Mazima ddala nze ndimuntu nga mwe, nerabira nga namwe
bwemwerabira, naye bwembanga nerabidde muzijukizanga).
Era Allah yateenda ababakabe okuba nti baali muddaala
lyawaggulu nyo mukumusiinza. Kyava y'agamba ku Nabbi
Nuuh mukumuwaana:
٣اإلسراء: چچ چ چ ڇ ڇ ٹ ٹ چ
{Mazima ddala yali (Nuuh) omuddu eyeebaza}.
Ate n'agamba ku Nabbi Muhammad (s.a.w):
١الفرقان: چڭ ڭ ڭ ۇ ۇ ۆ ۆ ۈ ۈ ٴۇ ٹ ٹ چ
{Obuluungi byoyo (Allah) bwalagawala eyassa kumuddu we
(Muhammad) ekitabo (Qura'n) ekyawula wakati w'amazima
n'obuliimba, abeere eri abantu bonna nga mutiisa (nga
mubaka)}.
Era n'agamba ku Nabbi Ibrahiim, ne Ishaaq, ne Y1aakuub,
(okusaasira kwa Allah nemirembe bibeere kubo):
ڦ ڦ ڦ ڦ ڄ ڄ ڄ ڄ ڃ ڃ ڃ ڃ ٹ ٹ چ
چ چ چ چ ڇ ڇ ڇ ڇ ڍ
43
{Era Jukira (buluungi) abaddu baffe (abewaayo okuunsiinza)
Ibrahiim, ne Ishaaq, ne Yakuub bannanyini maanyi
(mukunsiinza) n'okumanya (amateeka nebigedererwa bye
ddiini) mazima ddala twabawa okujjukira n'okukorerera
enyumba eyenkomerero okwenjawulo, mazima bbo gyetuli baali
mubaddu betwalondobamu abaluungi (bakola empisa enungi
nemirimu mubwesiimbu)}
Era Allah n'agamba ku Nabbi Isa mutabani wa Mariam (a.s.w):
٥٩الزخرف: چۇئ ۆئ ۆئ ۈئ ۈئ ېئ ېئ ېئ ىئ ىئ ىئ ٹ ٹ چ
{Talina kirala kyali (Isa) okujjako okuba omuddu (eyatondebwa
obutondebwa) gwetwaawa ebyengera, era netumufuula
akabonero eri abaana bayisirayiri}.
Okukkiriza ababaka kuzingiramu ebintu bina:
Ekisooka: Okukkiriza nti obubakaba bwabwe byamazima, era
oyo yenna aliimbisa oba n'awakanya obubaka bw'omu kubo aba
alimbisizza era n'awakanya bonna, nga Allah bweyagamba nti:
١٠٥الشعراء: چۇئ ۇئ ۆئ ۆئ ۈئ ٹ ٹ چ
{Baalimbisa abantu b'omulembe gwa Nuuh ababaka}. Allah
n'abalamulako okuliimbisa ababaka bonna songa ate mukiseera
Nuuh weyabeererawo tewaliiwo mubaka mulala okujjako ye
yekka. Nabwekityo abakulisitaayo abaliimbisa Nabbi
Muhammad (s.a.w) nebatamugoberera, balamulwako okuba nti
baalimbisa Nabbi Isa (a.s.w) Era nga sibagoberezibe n'akamu,
songa ate Nabbi Isa yabasanyusa n'okujja kwa Nabbi
Muhammad (s.a.w), ate nga n'amakulu gokubasanyusa kukujja
kwe, kwekuba nti ajja kuba mubaka atumidwa jebali abajje
mububuze bwebalimu abalungamye eri ekkubo eggolokofu.
Ekyokubiri: Okukiriza erinnya lyoyo gwetutegedde mubo
erinnya, okugeza nga Muhammad, Ibrahiim, muusa, Isa, Nuuh
(okusaasira kwa Allah nemirembe bibe kubo), abataano bano
44
bebeenkizo mubabaka, era Allah yaboogerako emirundi ebiri
(mumbeera eyaawamu) mu Qura'n awasooka: musurat al
ahzaab:
ٿ ٺٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ڀ ڀٹ ٹ چ
٧األحزاب: چ
{Jukira (owange gwe Muhammad) bwe twakola endagaano neba
Nabbi (ey'okuba nti balina okusiinza Allah yekka n'okkowoola
abantu eri okumusiinza n'okuba nga buli omu akakasa amazima
g'omulala), naawe (Gwe Muhammad), ne Nuuh, ne Ibrahiim, ne
Muusa, ne Isa mutabani wa Mariam (abenkizo muba Nabbi)}.
Ne musurat al shuura:
چ چ چ چ ڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ ڎ ڎ ڃچ ٹ ٹ
١٣الشورى: چڻ گڑ ڑ ک ک ک ک ژڈ ڈ ژ
{Allah yabalaalikako eddiini (y'obusiraamu) eyo jeyalaamira
Nuuh era yeeyo jetwakussaako era nga jetwalamira nayo
Ibrahiim, ne Muusa, ne Isa, Netubaganba nti muyimirizeewo
eddiini (nga mwawula Allah era muteeke munkola amateeka ge)
era temwawukanaanga muyo}.
Ate oyo gwetuba tetutegedde linnya lye mubo, tumukkiriza
mumbeera ey'awamu. Allah y'agamba:
ٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ڀ ڀ ٹ ٹ چ
٧٨غافر: چڄ ٺٺ
{Mazima twatuma ababaka oluberyeberye lwo, mubo mulimu
betwakunyumizaako era mubo mulimu betutakunyumizaako}.
Ekyokusatu: Okukakasa ebituufu ebibogwerwako nti bya
Mazima.
45
Ekyokuna: Okukolera kumateeka goyo eyatumwa jetuli, era
nga yemenkomerero mubo (Muhammad s.a.w), eyatumibwa eri
abantu bonna. Allah y'agamba:
ۈ ٴۇ ۋ ۋ ۅ ۅ ۉ ۉ ې ې ې ې ى ٹ ٹ چ
٦٥النساء: چى ائ ائ ەئ ەئ وئ وئ
{Nelayiridde nze mukamaawo tebasobola kuba bakkiriza
okutuusa nga bakulamuzisizza mwebyo byebafuunyemu
obutakaanya wakati wabwe, ate nebatasigalamu kakunkuna
konna mwekyo kyoba alamudde nebakakkana eri okulamulako
era nebeewaayo olwewaayo olusembayo}.
Okukkiriza ababaka kulina ebibala bino wammanga.
Ekisooka: Okumanya ekisa kya Allah nokufaayo kwe eri
abaddu be bweyabatumira ababaka babalungamye eri ekkubo
eggolokofu, n'okubannyonnyola butya bwebalina okusiinza
Allah, kubanga amagezi g'omuntu tegasobola kwemalira gokka
kyekyo.
Ekyokubiri: Okwebaza Allah olwebwengera bino ebinene.
Ekyokusatu: Okwagala ababaka n'okubagulumiza,
n'okubawaana mumbeera ebasanidde, kubanga babaka ba Allah,
era nga b'amusiinza, n'okutuusa obubabaka bwe, n'okubuulirrira
abaddu be.
Waliwo abantu abaabula nebalimbisa ababaka ba Allah, nga
beekwasa nti ababaka tebava mubantu. Wabula ekyekwaso ekyo
Allah yakyogerako era nakimenyawo.
ۅ ۅ ۉ ۉ ې ې ې ې ى ى ائ ائ ەئ ەئ وئ وئ ٹ ٹ چ
ۇئ ۇئ ۆئ ۆئ ۈئ ۈئ ېئ ېئ ېئ ىئ ىئ ىئ ی
٩٥ - ٩٤اإلسراء: چی ی
46
{Tewali ky'agaana bantu kukkiriza mukiseera obulungamu
bwebaabajjira, okujjako okugamba nti Allah atuma atya
omubaka nga muntu? gamba (owange gwe Muhammad), nti
singa bamalayika beebaali babeera munsi nga mwebawangalira,
twandissizza kubo (okuva muggulu) omubaka nga Malayika}.
Bwatyo Allah n'amenyawo okwekwasa kwabwe nti omubaka
ateekeddwa kuba muntu kuba b'atumwamu munsi Bantu nga
bbo.
(Ababaka) Bantu, Era singa kunsi kwali kubeerako bamalayika
ne Allah yandissizza omubaka okuva muggulu nga Malayika
basobole okubeera nga bbo. Bwatyo Allah bweyayogera
kubailimbisa ba Nabbi nti b'agamba:
ې ى ى ائ ائ ەئ ەئ وئ وئ ۇئ ۇئ ۆئ ۆئ چ ٹ ٹ
ٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ڀ ڀ ٺ ۈئ ۈئ ېئ
١١ - ١٠إبراهيم: چڦ ڤٿ ٿ ٿ ٿ ٹ ٹ ٹ ٹ ڤ ٺٺ ٺ
{Temuli mwe okujjako muli bantu nga ffe, mwagala kutujja
kwebyo bakadde baffe byebaali basiinza, bwemubanga
mwogera mazima muleete obujulizi obweyolefu obukakasa
ekyo kyemugamba, ababaka baabwe nebabagamba nti, kituufu
tuli bantu nga mwe naye (mukimanye) nti Allah awa
ebyengerabye oyo gwaba ayagadde mubaddu be, era tetusobola
kubaleetera bujulizi (ekyamagero) kyonna okujjako nga Allah
akkirizza}.
OMUSINGI OGWOKUTAANO: OKUKKIRIZA
OLUNAKU LWENKOMERERO.
Olunaku lwenkomerero, lwelunaku lwokuyimira, abantu
lwebagenda okuzukizibwa babalibwe era basasulwe empeera
yabwe. Lw'atumibwa olunaku lwenkomerero kubanga tewali
lunaku luvannyuma lwalwo lugenda kujja, abomujjana bagenda
47
kutebenkera mubisulo byabwe bugenderevu, n'abomumuliro
bagenda kutebeenkera mubisulo byabwe bugenderevu.
Okukkiriza olunaku lwenkomerero kuzingiramu ebintu
bisatu.
Ekisooka: Okukkiriza okuzuukira, (nga nakwo kwekuzuukiza
abafu mukiseera engombe eyokubiri bweriba nga efuuyidwa,
abantu bayimirire mumaaso ga Allah omulezi webitonde
byonna, nga tebalina ngatto mubigere, bali bukunya tebalina
kyebebisseeko, nga balina ekikuta sibatayirire. Allah y'agamba:
األنبياء: چڃ ڃ چ چ ڃڄ ڃ ڄڄ ڦ ڦ ڦ ڄ چ ٹ ٹ
٤١٠
{Nga byetwatandika okutonda okwasooka, bwetugenda
okubazzaayo, tubalagaanyisizza endagaano nga okujituukiriza
kuli kuffe, era nga tulina obusobozi kukyonna kyetuba twagadde
okkola}.
Okuzuukira kwamazima, era kuliko obujulizi okuva mu Qura'n,
ne mu hadiith za Nabbi (s.a.w), n'okwegatta kwabasiraamu.
Obujulizi mu Qura'n; Allah y'agamba:
چۈ ٴۇ ۋ ۋ ۅ ۅ ۉ ۉ ې ې ې ې چ ٹ ٹ
١٦ - ١٥المؤمنون:
{Mazima ddala mwe Oluvannyuma (lwokuba abalamu)
mugenda kufa, era mazima ddala mwe kulunaku lwenkomerero
mugenda kuzuukizibwa}.
Ate Nabbi (s.a.w) y'agamba mu hadith:
متفق عليه.)يحشر الناس يوم القيامة حفاة غرال(.
48
(Abantu bagenda kuzuukizibwa kulunaku lwenkomerero nga
tebalina ngatto mubigere, era nga sibatayirire). Hadith
y'egattibwako bukhar ne musilim.
Abasiramu beegatta kukubaawo kwalwo, era nga
okubeerawo kwalwo kulina ekigendererwa ekyokuba nti
buddiro nga abantu kwolwo lwebagenda okusasulwa ebyo Allah
byeyabagamba okkola nga abiyisa kunnimi z'ababaka be. Allah
y'agamba:
١١٥المؤمنون: چے ے ۓ ۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ۇ ٹ ٹ چ
{Abaffe mulowooza nti twabatonda ngatuzannya buzannyi (nga
tetulina kigendererwa), era nga temugenda kudda jetuli
(okuzuukizibwa)}.
٨٥القصص: چٿ پٻ پ پ پٱ ٻ ٻ ٻ چ وقال لنبيه
Era nagamba Nabbi we nti {Mazima oyo (Allah) eyakussaako
Qura'n agenda kukuzzaayo jeyakujja (kuzuukiza)}.
Ekyokubiri: okukkiriza okubalibwa n'okusasulwa. Omuntu ajja
kubalibwa emirimuje kulunaku olwo era asasulwe empeeraye
(okusiinziira nga bweyakola), Era nga ekyo kiriko obujulizi
okuva mu Qura'n, nemu hadith za Nabbi (s.a.w), nokwegatta
kwabasiraamu.
Allah y'agamba:
٢٦ - ٢٥الغاشية: چۆئ ۆئ ۈئ ۈئ ېئ ېئ ېئ ىئ ىئ ٹ ٹ چ
{Mazima jetuli jebagenda okudda, era oluvannyuma kuli kuffe
okubalibwa kwabe}.
Era n'agamba:
49
گ ڳ ڳ ڳ ڳ ڱ ڱ ڱ ڱ گک ک ک ک گ گٹ ٹ چ
١٦٠األنعام: چں ں
{Oyo yenna alijja nekiruungi kyonna, kigenda kubisibwamu
emirundi kumi egikifaanana, n'alijja nekibi kyonna tageenda
kusasulwa okujjako empeera efaanana ekibi bye, atenga bonna
tebalyazamanyiddwa}.
Era n'agamba:
ڄ ڄ ڃ ڄڤ ڤ ڤ ڤ ڦ ڦ ڦ ڦ ڄچ ٹ ٹ
٤٧األنبياء: چچ ڇ ڇ ڇ چڃ ڃ ڃ چ چ
{Netussawo ebipimo eby'obwenkanya olw'olukulunaku
lw'enkomerero, omuntu (omyoyo) tegugenda kulyazamanyibwa
kantu konna, nebwaliba nga yakola akanyinkuuli akenkana nga
empeke y'akalo (oba akantu akasembayo okuba akatono ennyo)
tugenda kkaleeta (tukamulage) kimala okuba nga ffe babazi
(abaazima era abakenkufu)}.
Ate musunna, hadith nga eva ku ibn Umar (Allah yasiima
kubo). Agamba nti Nabbi (s.a.w) y'agamba:
إن هللا يدني المؤمن فيضع عليه كنفه, ويستره فيقول: أتعرف ذنبك كذا؟ )
أتعرف ذنبك كذا؟ فيقول نعم أي رب حتى إذا قرره بذنوبه, ورأى أنه قد
, فيعطى كتاب لك اليومهلك قال: قد سترتها عليك في الدنيا, وأنا أغفرها
حسناته, وأما الكفار والمنافقين, فينادى على رؤوس الخالئق هؤالء الذين
متفق عليه. (كذبوا على ربهم, أال لعنة هللا على الظالمين
(Mazima Allah agenda kuseembera awali omuddu we
omukkiriza n'amusseeko ebibatu bye (ebyeyawulidde ye
mukitiibwa kye) n'amubikkirira, n'amugamb nti ojjukira
ezzambi lyo bweriti nebweriti? ojjukira ezzambi lyo bweriti
nebweriti? omuddu ajja kuddamu nti yye omuleziwange,
okutuusa lweyekakasaako ezzambi lye, n'alaba nti azikiridde,
Allah amugambe, nabibikkirira kunsi, era olwaleero
50
nkusonyiye, omuddu n'aweebwa ekitabo kye kyebiruungi bye,
Naye bbo ab'awakanya Allah, n'abannanfuusi, bajja kkowoolwa
munamunji w'omuntu, bagambibwe nti, abo bemulaba
bebaayogera nga kumukama wabwe ebyobulimba ''nga
bamwogeza ebyo byataayogera era nga bamuwakanya'' ,
Abange ekikolimo kya Allah kibeere kubalyazaamaanyi).
Era kyakakata okuva ku Nabbi (s.a.w) nti omuntu yenna
amalirira okkola ekiruungi kimu era nakikola, Allah
amuwandikako ebiruungi kumi okutuuka ku nsanvu, n'asigala
nga amukubisizaamu erimundi mingi, Era singa omuntu amalira
okkola ekibi, nakikola, Allah amuwandikako ekibi kimu.
Era abasiraamu begatta nebakakasa nti okubalibwa
n'okusasulwa kumirimu abaddu jebakola by'amazima, era nga
kikwatagana buluungi nesonga lwaki Allah yassa ebitabo,
n'atuma ababaka, n'alaalika kubaddu okukkiriza ebyo byonna
byebajja nabyo, n'okukolera kubyetteeka kubyo, era
n'okulwanyisa ababiwakanya kwatteeka, n'omusaayi gwabwe
gukkirizibwa okuyiibwa, n'abakyala babwe, wamu ne maali
yabwe bibowebwa (bitwalibwa). Singa tewali kubalibwa wadde
okusasulwa, ebyo byonna tebyandibadde n'amakulu, atenga
Allah tasobola kulaalika kubanddu be kintu kyonna kitalina
makulu. Era Allah yalaza kunsonga eyo n'agamba nti:
گ گ گگ ڈ ژ ژ ڑ ڑ ک ک ک ک ٹ ٹ چ
٧ - ٦األعراف: چڳ ڳ
{Tugenda kubuuliza ddala abo betwatumamu ababaka, era
tugenda kubuuliza ddala ababaka (betwabatumira) tugenda
kubategeereza ddala byebaakola nga tujja kukumanya ate nga
sikuba nti webabikolera tetwaliwo}.
Ekyokusatu: Okukkiriza ejjana n'omuliro okuba nti bwebuddiro
obwolubeerera eri ebitonde. Ejjana nyumba yabyengera, Allah
yagiteekerateekera abakkiriza abamutya, abakikkiriza ebyo
51
byeyabalaalikako okukkiriza, nebagondera Allah n'omubaka we,
nga bakikola kulwa Allah wamu n'okugoberera enjigiriza ya
Nabbi Muhammad (s.a.w). Mujjana mulimu ebyengera
ebyenjawulo amaaso gebitalabangako, n'amatu
gebitawulirangako, wadde emitima okubirowoozako. Allah
y'agamba:
ٱ ٻ ٻ ٴۇ ۋ ۋ ۅ ۅ ۉ ۉ ې ې ې چ ٹ ٹ
ٿ ٿ ٹ ٹ ٹ ٿٺ ٺ ٺ ٺ ٿ ڀٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ڀ
٨ - ٧البينة: چ
{Mazima abakkiriza nebakola emirimu emiruungi, abo
b'ebitonde ebisiinga okubeera ebiruungi, empeera yabwe eri
omulezi wabwe (Allah) y'enyumba eyemirembe, balina ejjana
eyitibwa Adeni nga wansi waayo wakulukutirayo emigga,
bakugibeeramu lubeerera, Allah yabasiima kubo, nabo
nebamusiima, ekyonno kiri kubuli yenna eyatya omuleziwe}.
السجدة: چڻ ڻ ڻ ڻ ۀ ۀ ہ ہ ہ ہ ھ ھ ھ ھ ٹ ٹ چ و
٧١
Era Allah n'agamba
{Teri n'omu amanyi ebyo ebibakwekeddwa mubiruungi ebinji
ebyebika ebyenjawulo (ebyabateekerwateekerwa) nga mpeera
olwebyo byeb'alinga bakola}.
Ate gwo omuliro, nyumba yabibonerezo, Allah
yagiteekerateekera abawakanyi, abalyazamaanyi,
abamuwakanya nebajeemera ababaka be, gulimu ebibonerezo
ebyenjawulo, ebikakali ennyo omuntu byatayinza
n'akulowoozako wadde okuba nti ajja kubiguminkiriza.
Allah y'agamba:
١٣آل عمران: چېئ ېئ ېئ ىئ ىئ ىئ چ ٹ ٹ
52
{Mutye nnyo omuliro ogwo ogwateekerateekerwa
abatakkiriza}.
ڎ ڎ ڈ ڈ ڌڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ چچ ٹ ٹ و
٢الكهف: چک ک ک ک گ ڑژ ژ ڑ
Era n'agamba: {Mazima ddala ffe twateekerateekera
abalyazamaanyi omuliro, bagenda kwetoloozebwako olukomera
olwommuliro bwebalisaba okunywesebwa kulwendo lwamazzi,
balinywesebwa olweje olubambula ebyenyi, nga luliinga
bwolaba ekyuuma ekiteekedwa mumuliro nekyengererera, nga
kyakunywa kibi nnyo era nga kifo kibi nnyo kyebagenda
okuwummuliramu}.
ڦ ڦ ڦ ڄ ڦٿ ٿ ٿ ٹ ٹ ٹ ٹ ڤ ڤ ڤ ڤٹ ٹ چ و
األحزاب: ڄ ڄ ڄ ڃ ڃ ڃ ڃ چ چ چ چ ڇ ڇ ڇ
٦ – ٦٤
Era Allah n'agamba: {Mazima Allah yagoba mukusaasira kwe
abatakkiriza, n'abateekerateekera omuliro ogwokya ennyo,
baakugubeeramu lubeerera, tebageenda kufuna wamukwano
wadde omutaasa, olunaku lwebagenda okukyusibwa kyusibwa
mumuliro, bajja kulaajana nga bagamba nti nga zitusaanze ffe
singa twagondera Allah, netugondera n'omubaka}.
Okukkiriza olunaku lwenkomerero kugoberezebwako,
okukkiriza byonna ebibaawo oluvannyuma lwokufa,
okugeza nga:
1:ebikemo byomuntaana: nga nabyo byebibuuzo ebibuuzibwa
omufu oluvannyuma lwokuziikibwa, abuzibwa ku mulezi we
(Allah), neddiini y'Obusiraamu, ne Nabbi Muhammad, naye
Allah abalyazaamanyi ababuza, (nebaba nga tebasobola
kuddamu bibuuzo bino) abawakanya amateeka ga Allah bajja
53
kugamba ''haah, haah'', simanyi, ate omunnanfuusi oba eyali
obuusabuusa ajja kugamba '' simanyi wabula nawulira abantu
bagamba nange nengamba''.
Ebibonerezo nebyengera byomuntaana:
Byo ebibonerezo byomuntaana: bajja kugambibwa
abalyazaamanyi mubannanfunsi n'abawakanya amateeka ga
Allah (abakaafiiri), nga Allah bwe y'agamba mu Qura'n:
ڭ ڭ ڭ ۇ ۇ ۆ ۆ ۈ ۈ ٴۇ ۋ چ ٹ ٹ
ۅ ۉ ۉ ې ې ې ې ى ى ائ ائ ەئ ەئ وئ ۅۋ
٩٣األنعام: چوئ ۇئ
{Singa olaba abalyazamaanyi ng'abali mubukaawu bwokufa,
nga bamalayika banjuluzza emikono gyabwe okubajjamu
emyoyo gyabwe, nebabagamba (nebabakudaalira) nti mwejje
mumbeera eno jemulimu (bwemubanga musobola), olwaleero
mugenda kusasulwa ebibonerezo ebyobunyomoofu kwebyo
byemwali mwogera ku Allah ebitali bituufu, era nga mwali
mwekuluuntaliza kumateekaage}.
Era Allah y'agamba ku falaawo nebanne:
ۀ ۀ ہ ہ ہ ہ ھ ڻں ں ڻ ڻ ڻٹ ٹ چ
٤٦ غافر: چھ ھ
{Buli kunkya neggulo bolesebwa eri omuliro, nekuluku
lwenkomerero falaawo nebanne bajja kuyingizibwa
mubibonerezo ebyamaanyi ennyo}.
Ate mu shahiih musilim hadith nga eva ku zaid mutabani wa
Thaabit (Allah yasiima kuye) nga agijja ku Nabbi (s.a.w)
y'agamba nti:
54
أن يسمعكم من عذاب القبر الذي أسمع منه, )فلوال أن ال تدافنوا لدعوت هللا
ثم أقبل بوجهه فقال: تعوذوا باهلل من عذاب النار قالوا: نعوذ باهلل من عذاب
: تعوذوا باهلل من عذاب القبر, قالوا نعوذ باهلل من عذاب القبر, لالنار, فقا
قال: تعوذوا باهلل من الفتن ما ظهر منها وما بطن, قالوا: نعوذ باهلل من الفتن
ما ظهر منها وما بطن, قال: تعوذوا باهلل من فتنة الدجال, قالوا نعوذ باهلل من
فتنة الدجال(
(singa sikutya nti muyinza obutaziika bannammwe, nandisabye
Allah n'abawuliza kubibonerezo byomuntaana nga nze
bwembiwulira, oluvannyuma n'abolekera n'agamba,
mwekingirize (musabe) Allah abowonye ebibonerezo
by'omuliro, nebagamba: ''tusaba Allah atukingiriza ebibonerezo
by'omuliro'', nagamba: mwekingirize eri Allah ebibonerezo
byomuntaana, nebagamba: ''tusaba Allah atuwonye ebibonerezo
byomuntaana'' n'agamba: mwekingirize eri Allah abawonye
ebikemo ebyeyolefu mubyo n'ebyekweese, nebagamba: ''tusaba
Allah atuwonye ebebikemo ebyeyolefu mubyo n'ebyekweese'',
n'agamba: mwekingirize eri Allah ekikemo kya dajjaali,
nebagamba: tusaba Allah atukingiriza ekikemo kya dajjaali'').
Ate byo ebyengera byo muntaana, by'abakkiriza ab'amazima,
Allah y'agamba:
ٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ڀ ٹ ٹ چ
٣٠فصلت: چڀ ٺ ٺ ٺ ٺ ٿ ٿ ٿ
{Mazima ddala abo abagamba nga bakakasa nti omulezi waffe
ye Allah, oluvannyuma nebatamugattako kintu kyonna,
Malayika bakka jebali okuva eri Allah mukiseera kyokufa
nebabagumya, nebabagamba nti temutya jemugenda teliiyo
buzibu era temunakuwala olwebyo byemulese, musanyuke
n'ejannah eyo jemwalagaanyisibwa}.
55
Era Allah n'agamba:
ڤ ڦ ڦ ڦ ڦ ڄ ڄ ڄ ڄ ڃ ڃ ڃ ڃ چ چ چ ٹ ٹ
چ چ ڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ ڎ ڎ ڈ ڈ ژ ژ ڑ
٨٩ - ٨٣الواقعة: چڑ ک ک ک ک گ گ
{Mulaba mutya mukiseera omwoyo byeguba nga gutuuse
muddookooli nga namwe muukiseera ekyo mutunula butunuzi
(nga temulina kyakkola) omuntu oyo tuba kumpi nnyo jaali
okusinga mwe, naye nga mwe temutulaba, kale bwemuba nga
temugenda kuzuukizibwa nga mwe bwemugamba, omwoyo
muguzzeemu bwemuba muli b'amazima, naye bwaba nga omufu
abadde mubokulusegere lwa Allah agenda kufuna okuwummula
nabuli kyonna ekisanyusa omwoyo ge, ne Jannah eyebyengera}.
Hadith nga eva ku barra-a ibn a'zib (Allah yasiima kuye
yagamba) nga agijja ku Nabbi (s.a.w) y'agamba kumukkiriza
bwayanukula (oboluungi ebibuuzo ebimubuuzibwa) bamalayika
ababiri muntaana ye:
ينادي مناد من السماء أن صدق عبدي, فأفرشوه من الجنة, وألبسوه من )
روحها وطيبها, ويفسح له تيه منالجنة, وافتحوا له بابا إلى الجنة, قال فيأ
في قبره مد بصره ( . رواه أحمد, وأبو داود,في حديث طويل.
(Akowoola omukowooze okuva muggulu nti omuddu wange
ayogedde Mazima, mumwalirire mujjana, Era mumwambaze
(engoye zomujjana), Era mumuggulire omulyango eri ejjana,
n'agamba (Nabbi), obuwewo bwomujjana n'obuwoowo bwayo
butaandika okumujjira, Era nagaziyizibwa entaanaye okutuuka
amaaso ge wegakoma).
56
Okukkiriza olunaku lwenkomerero kirina ebibala, nga
mubyo mulimu bino wammanga:
Ekisooka: Okwagala okugondera Allah nga okola emirimu
emiruungi olwokusuubira empeera y'olunaku lwenkomerero.
Ekyokubiri: Okutya okkola ebikolwa ebyobujeemu
n'okubisiima oba okubiwagira nga otya ebibonerezo byolunaku
olwo.
Ekyokusatu: Okuddizaawo omukkiriza ebyamuyitako
mubulamu bwensi nga aweebwa ebyengera nempeera yolunaku
olwo.
Naye bbo abawakanya amateeka ga Allah (abakaafiiri),
bawakanya okuzuukira oluvannyuma lwokufa nga bagamba nti
ekyo tekisoboka. Wabula endowooza yabwe eyo nfu era
ebyawaandibwa ebitukuvu, n'ebirabwako wamu n'amagezi
birambika buluungi obufu bwayo.
Allah yagamba mu Qura'n:
ۋ ۅ ۅ ۉ ۉ ۋڭ ۇ ۇ ۆ ۆ ۈ ۈ ٴۇ ڭے ے ۓ ۓ ڭ ڭٹ ٹ چ
٧التغابن: چ
{Bagamba abo abatakkiriza Allah nti tebageenda kuzuukizibwa,
gamba (owange gwe Muhammad) nti sibwe kiri nga
bwemugamba mbalayiridde omulezi wange mujja kuzuukizibwa
ddala, oluvannyuma mutegeezebwe byemwakola, ate nga ekyo
eri Allah kyangu nnyo}.
Era ebitabo byonna ebyassibwa okuva muggulu byegatta
nebikakasa okubeerawo kw'olunaku olwo.
Ate byo ebirabwako: Allah yalaga abaddu be okuzuukiza
kwabafu kuno kunsi era musurat albaqarah mulimu
ebyokulabirako bitaano kunsonga eno.
57
Ekisooka: Abantu ba Nabbi muusa mukiseera bwebaamugamba
nti: tetugenda kukkiriza okutuusa nga tulabye ku Allah
owekitiibwa n'amaaso gaffe, Allah n'abatta oluvannyuma
n'abazuukiza, era kunsonga eyo Allah y'agamba bweyali nga
ayogera n'abaana bayisirayiri:
ھ ھ ھ ھ ے ے ۓ ۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ۇ ٹ ٹ چ
٥٦ - ٥٥البقرة: چۇ ۆ ۆ ۈ ۈ ٴۇ ۋ ۋ ۅ ۅ
{Mujjukire mukiseera wemwagambira muusa nti tetujja
kukkiriza okutuusa nga tulabye ku Allah n'amaaso gaffe, laddu
nebakuba nganamwe mutunula (nemufa) oluvannyuma
netubabazuukiza mukufa kwamwe oba olyawo muneebaza}.
Ekyukubiri: Mukyafaayo ky'omusajja eyattibwa abaana
bayisirayiri nebeewakana kwani yamusse, Allah n'abalagira
basale ente bamale bakubise ennyama yaayo omubirigwe
ababuulire ani yamusse. Allah y'agamba kusonga eyo:
ڑڌ ڌ ڎ ڎ ڈ ڈ ژ ژ ڑ ڍڇ ڇ ڇ ڇ ڍٹ ٹ چ
٧٣ - ٧٢البقرة: چک ک ک ک گ گ گ گ ڳ
{Mujjukire bwe mwatta omuntu nemumala nemwewakana,
nemukaayagana kukuttibwa kwe, naye Allah w'akwolesa ekyo
kyemwali mukweka, netubagamba musale ente bwemumala
muddire ebimu kubituntu byayo mubikubise kukimu kukitundu
kyonna kumubirigwe ababuulire ani ayamusse, bwatyo Allah
bwazuukiza abafu, era abalaga obumu kububonero bwe
mulyoke mutegeere}.
Ekyokusatu: Ekyafaayo ky'abantu abaafuluma munyumba
zabwe nga badduka okufa, nga bali munkumi nankumi, Allah
n'abatta oluvannyuma n'abazuukiza. Allah y'agamba:
58
ڱ ڱ ڱ ڱ ں ں ڻ ڻ ڻ ڻ ۀ ۀ ہ ہ ڳچ ٹ ٹ
ھ ھ ے ے ۓ ۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ۇ ۇ ھہ ہ ھ
٢٤٣البقرة: چ
{Abaffe tolaba abo abaafuluma mumayumba gabwe nga bali
nkumi nankumi ngabadduka okufa, Allah n'abatta ate
oluvannyuma n'abazuukiza, Mazima Allah awa abantu
ebiruungi naye abantu abasinga obuungi tebeebaza}.
Ekyokuna: Ekyafaayo ky'omuntu eyayita kukyalo nga kifudde
kyonna kiweddewo (Abantu n'ebintu byonna nga bisaanyewo)
n'alaba nga kiri wala nnyo Allah okukizzawo, Allah n'amutta
okumala emyaka kikumi (100) oluvannyuma n'amuzuukiza.
Allah yagamba:
ھڱ ڱ ڱ ں ں ڻ ڻ ڻ ڻ ۀ ۀ ہ ہ ہ ہ ھٹ ٹ چ
ۋ ۅ ۅ ۉ ۋۇ ۆ ۆ ۈ ۈ ٴۇ ۇڭ ڭ ڭ ڭھ ھ ے ے ۓ ۓ
ائ ەئ ەئ وئ وئ ائۉ ې ې ې ې ى ى
ىئ ی ی ی ىئۆئ ۆئ ۈئ ۈئ ېئ ېئ ېئ ىئ ۇئۇئ
٢٥٩ - ٢٥٨البقرة: چی جئ حئ مئ ىئ يئ جب حب
{Oba tolaba oyo eyayita kukyalo kyonna nga kisaanyewo (nga
kifudde), n'agamba nti kino Allah ayinza atya okukizzaawo
oluvannyuma lwokuba nga kifudde, Allah n'amutta okumala
emyaka kikumi, n'oluvannyuma na'muzuukiza, n'amubuuza
omaze banga ki ng'ofudde?, n'agamba nti maze lunaku lumu oba
kitundu kyalunaku, Allah n'amugamba nti omaze emyaka
kikumi, tunulako kubyokulya byo n'ekubyokunya byo tebinnaba
kwonooneka era otunule eri endogoyi yo, era tugenda kufuula
akabonero (akokulabirako) eri abantu, Era tunula eri amagumba
engeri jetugagattamu oluvannyuma netugambazaako ennyama,
59
bweyamala okulaba ebyo n'amaaso ge y'agamba: ntegedde era
nkakasizza nti Allah alina obuyinza}.
Ekyokutaano: Ekyafaayo kya Nabbi Ibrahiim (mukwano gwa
Allah), bweyasaba Allah amulage butya bwazuukiza abafu?
Allah n'amulagira asale ebinyonyi bina abisalesale, addire
ebindu byabyo abigabanye kunsozi ezimuli okumpi,
oluvannyuma abikowoole, ebitundu byeyasazesaze bijja
kuddawo bitandike okujja eri Ibrahiim nga bitambula. Allah
y'agamba mu Qura'n:
ٺ ٺ ٺ ڀڀ ڀ ڀ پٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ ٹ ٹ چ
ٿ ٿ ٹ ٹ ٹ ٹ ڤ ڤ ڤ ڤ ڦ ڦ ڦ ڦ ڄ ٿٺ ٿ
٦٠٢ - ٢٥٨البقرة: چ ڃ ڃ ڃ چ چ چ ڃڄ ڄ ڄ
{Jukira Ibrahiim (a.s.w) bweyasaba Allah amulage butya
bw'azuukiza abafu, Allah yamubuuza nti: abaffe tokkiriza?
Ibrahiim n'addamu nti: nzikkiriza mukamawange, naye mbadde
njagala omutima gwange gutebeenkere, Allah n'amugamba asale
ebinyonyi bina abikutulemu ebitundu tundu (ebifi) oluvannyuma
ebifi ebyo abigabanye kunsozi ezimulinaanye, bwomaliriza
abikowoole bijja kujja gyali nga byanguwa, Omanye nti
Mazima Allah yewekitiibwa era ateeka buli kintu mukifo
kyakyo}.
Ate obujulizi obwamagezi buli mumbeera yamirundi ebiri:
Esooka: Mazima Allah yatonda eggulu nensi nabuli kintu
kyonna ekirimu nga tebyaliwo, kati oyo asobola okutandika
okutonda ebitonde, tayinza kulemererwa kubizzawo, Allah
y'gamba:
الروم: چڇ ڃڄ ڄ ڄ ڄ ڤ ڦ ڦ ڦ ڦٹ ٹ چ
60
{Era yooyo (Allah) eyatandika okutonda (ebitonde) ate
oluvannyuma (lwokufa) ajja kubizzaawo, era nga ekyo kitono
nnyo gyaali}.
١األنبياء: چڃ ڃ چ چ ڃڄ ڃ ڄڦ ڦ ڦ ڄ ڄٹ ٹ چ
Era n'agamba:
{Nga byetwatandika okutonda okwasooka, bwetugenda
okubazzayo, tubalagaanyisizza endagaano nga okujituukiriza
kuli kuffe, era nga tulina obusobozi kukyonna kyetuba twagadde
okkola}.
Era Allah n'agamba bweyali nga ayanukula abo abaali
bawakanya okuzzibwawo kwamagumba oluvannyuma
lwokumerenguka:
٧٩يس: چہ ہ ھ ھ ھ ہڻ ڻ ڻ ۀ ۀ ہچ ٹ ٹ
{Gamba (owange gwe Muhammad) nti ajja kugazzaawo
(amagumba) oyo eyagatonda omulundi ogwasooka, era nga
buli kutonda kwonna mumanyi}.
Eyokubiri: Mazima ensi esobola okukala yonna negwaawo
nebeera nga telinaamu wadde omuti ogwakiragala, Allah
natonnyesa enkuba neguddawo negulamuka, kati oyo Allah
asobola okuguzzawo n'aguwa obulamu oluvannyuma
lwokubanga gubadde mufu, asobola okuzuukiza abafu. Allah
y'agamba:
ٺ ٺ ڀٱ ٻ ٻ ٻ ٻ پ پ پ پ ڀ ڀ ڀچ ٹ ٹ
٩٣فصلت: چٿ ٿ ٹ ٹ ٹ ٹ ٿٺ ٺ ٿ
{N'obumu kububonero bwe obulaga okubaawo kwe, kwekuba
nga olaba ensi nga ekaze, naye bwetugitonyesaako enkuba, etiba
neyeeyongera okumera, Mazima oyo agiwadde obulamu, era
yazuukiza abafu, era nga kubuli kintu kyonna muyinza}.
61
ں ڻ ڻ ڻ ڻ ۀ ۀ ہ ہ ہ ہ ھ ھ ٹ ٹ چ و
١ - ٩ق: چۆ ۆ ۈ ۇڭ ڭ ڭ ۇ ڭھ ھ ے ے ۓ ۓ
Era Allah n'agamba:
{Netutonnyesa enkuba eyomukisa okuva waggulu, netumeza
nayo amalimiro n'ebimera ebyempeke ezikungulwa n'emitende
emiwaanvu egijjuddeko ebibala ebingi, nga kugabirira eri
abaddu bange, era netulamusa nayo (enkuba) ettaka ekkalu
nabwekutyo bwekugenda okubeera okuzuukira okuva
muntaana}.
Wabula waliwo abaabula, nebawakanya ebibonerezo
byomuntaana n'ebyegera byayo, ngabanba nti ekyo tekisoboka
kubanga kyawukana nebyo ebirabwako, era nti singa obikkula
kumufu nga alimuntaana ye osanga nti alinga bweyabadde nga
talina kyakyuseeko, nga n'entaana teyeeyongeddeeko mubunene
oba okufunda.
Endowooza eyo nkyamu kubanga eyawukana n'obujulizi obuli
mu Qura'n, ne hadith za Nabbi (s.a.w) n'amagezi, wamu nebyo
ebirabwako.
Bwo obujulizi okuva mu Qura'n, twabulabye mukukkiriza
kwokubaawo kwolunaku lwenkomerero. (Kulupapula no.53)
Ate obujulizi okuva mu hadith: hadith nga eri muswahiih
bukhaar, nga eva ku ibn abaasi (Allah yasiima kubo), yagamba:
(Nabbi (s.a.w) yafuluma n'agenda kuzimu kunjegoyego
zekibuga Madiinah, nawullira amaloboozi ga'bantu babiri nga
babonerezebwa muntaana zabwe) nayogera hadith,
ngamulimu nti: ('' naye omu kubo yali teyeewala musulo gwe
nga amala ekyetaago kye, ate omulala yali atambuza olugambo
wakati w'abantu).
62
Ate obujulizi bwebyo ebirabwako: Mazima omuntu
bwabanga yebase, asobola okulaba ng'ali mukifo ekyagaagavu
mubyengera yeyagala, oba okulaba ng'ali mukifo kifunda nnyo
nga awuubadde alumizibwa, era oluusi ayinza okusisimuka
mwebyo byabadde alaba ng'ali kubuliri bwe, mukisenge kye.
Okwebaka muganda wakufa era yensonga lwaki Allah yakuyita
kufa bweyagamba:
ڄ ڄ ڄ ڦٹ ٹ ٹ ڤ ڤ ڤ ڤ ڦ ڦ ڦٹ ٹ چ
٤٢الزمر: چڍ چڄ ڃ ڃ ڃ ڃ چ چ
{Allah afiisa emyoyo ekiseera kyagyo bwekiba nga kituuse
(okufa okunene), negyo egitannaba kutuukibwako kiseera
kyagyo mukwebaka kwagyo (okufa okutono), naye egyo
egituukidwako ekiseera kyagyo nagikwatirayo (natajizza ngulu)
emirala n'agita okutuusa lwegirimalako ekiseera kyagyo
ekyagigerekerwa}.
ate obujulizi bwamagezi; Mazima omuntu bwaba nga yebase
ayinza okulaba ekirooto eky'amazima nga kikwatagana buluungi
nebiriwo ebirabwako, okugeza ayinza okulaba Nabbi (s.a.w)
mukifaananyi kyennyni kyeyalimu, ate nga tukimanyi nti oyo
yenna ab'alabye Nabbi mukifaananyi kye aba amulabidde ddala,
songa ate yeebase mukisenge kye kubuliri bwe nga ali wala nyo
nebyalabye mukirooto. Kati bwekiba nga ekyo kisoboka
mumbeera yaffe wano kunsi, butya bwekitasoboka kubeerawo
kunkomerero?
Ate kwo okwekwasa kwabwe nti singa tubikkula kumufu
muntaana ye tusobola okumusanga nga takyuseeko (nga alinga
bweyaziikibwa), wadde entaana ye okweyongereako oba
okufunda. Ekyo kyanukulwa mumbeera zanjawulo:
Esooka: Okukimanya nti tetukkirizibwa kukontanya busiraamu
kyebwajja nakyo nebyo ebibuzaabuza, songa singa omuntu
63
afumintiriza buluungi asobola okulaba obukyamu obuli mwebyo
ebiri ebweeru wObusiraamu.
Eyokubiri: Mazima embeera zomuntaana kimu kubintu Allah
bweyesigaliza okubimanya, Era nga abantu tebasobola
kubimanya, Era tuba kubanga tusobola okumanya ebifa
muntaana, amakulu gokukkiriza ebyekweese tegandibaddewo.
N'abakkiriza bandibadde benkanankana mukukkiriza
n'okukakasa ebyekweese.
Eyokusatu: Ebibonerezo byomuntaana, ebyengera byayo,
n'okugaziwa kwayo wamu n'okufunda kwayo, omufu yasobola
okubimanya sossi akyali omulamu, nga omuntu eyeebase
bwasobola okulaba nga ali mukifo ekigazi oba ekifunda enyo,
songa ate munne gwali naye mukisenge, kubuliri bwebumu
mubulanganti emu, talina kyalaba kikyuseeko. Era bwatyo ne
Nabbi (s.a.w) obubaka bwamukkanga ko songa ate baswahaba
tebaawuliranga bimugambibwa, ate olunsi Malayika yajjiranga
mukifaananyi kyomuntu n'ayogera ne Nabbi, naye nga
baswahaba bbo tebalaba Malayika wadde okuwulira byayogera.
Eyokuna: Mazima okumanya kwebitonde kugere okusiinziira
nga Allah bweyayagala, era tebisobola kumanya buli kiriwo.
Eggulu omusaavu, nensi nabulimu kimu ekirimu kitendereza
Allah mubutuufu byokumutendereza, naye Allah awulizaako
mubitonde bye gwaba ayagadde olwolumu. Allah yagamba:
ڱ ڱ ڱ ڱ ں ں ڻ ڻ ڻ ڳگ گ گ گ ڳ ڳ ڳٹ ٹ چ
٤٤اإلسراء: چۀ ہ ہ ہ ہ ۀڻ
{Atenderezebwa Allah bulikimu kyonna ekiri muggulu
nemunsi, Era tewali kintu kyonna okujjako nga kitendereza
amatendo ge newankubadde nga temutegeera kutendereza
kwabyo}.
Nabwekityo sitaani namageege (amajinni) biwulira buli kimu
ekijja nekiva munsi, Era lumu amajinni gajja ewali Nabbi
64
(s.a.w) negawuliriza nga asoma Qura'n negajekkaanya
bwegamaliriza gaddayo eri gannaago nga matiisa Era
amabuulirize, newankubadde bwegutyo bweguli ate ffe
tetugalaba, Era kunsonga eyo Allah owekitiibwa yagamba:
ژ ژ ڑ ڑ ک ک ک ک گ گ گ گ ڳ ٹ ٹ چ
ڻ ۀ ۀ ہ ہ ہ ڻڱ ڱ ڱ ڱ ں ں ڻ ڻ ڳڳ ڳ
٧٢األعراف: چہ ھ
{Abange mwe abaana b'adam, tababusabuzaanga sitaani, nga
bweyabuzabuuza bakadde bamwe (adam ne hawa) nabajja mu
janna nga abambudde ebyambalo byabwe alyoke abalage
ensonyi zabwe, Mazima ddala ye nejjeerye ( mumajinni)
babalaba songa ate mwe temubalaba, Mazima twafuula
zisitaani, mikwaano gyabo abatakkiriza nga kibonerezo
gyebali}.
Kati bwekiba nga ebitonde tebiraba buli kimu ekiriwo,
tetukkirizibwa kuwakanya kubaawo kwebyo ebyakakasibwa nti
jebiri mubitalabika newankubadde nga ffe tetubiraba.
OMUSINGI OGWOMUKAAGA: OKUKKIRIZA
OKUGERA KWA ALLAH.
Okugera kwa Allah kwekusalawo kwe eri ebitonde, okusinziira
nga bwekwakulembera okumanya kwe, Era nga kukwatagana
nebigendererwa bye.
Okukikkiriza okugera kuzingiramu ebintu bina:
Ekisooka: okukkiriza nti Allah yamanya buli kintu kyonna
mubufunze nemubulambulukufu byakyo, okuva edda nedda,
sinsonga obanga ekyo kikwatagana kubikolwa bye, oba
kubikorwa bya baddu be.
65
Ekyokubiri: okukkiriza nti Allah ekyo yakiwandika ku lubaawo
olukuumibwa (lawuhu mahfuudh). Era kunsonga zino zombiriri
Allah y'agamba:
ۓ ۓ ڭ ڭ ےھ ھ ھ ے ھڻ ڻ ڻ ۀ ۀ ہ ہ ہ ہچ ٹ ٹ
٧٠الحج: چڭ ڭ
{Abaffe tomanyi nti Allah amanyi byonna ebiri muggulu ne
munsi, Mazima ebyo byonna biri mukitabo (biwandiike), Era
nga Mazima ddala eri Allah ekyo kangu nyo}.
Ate muswahiih musirimu, hadith nga eva ku abudallah ibn amr
ibn a'si (Allah yasiima kubo), yagamba nti: nawulira omubaka
wa Allah (s.a.w) nga agamba nti:'' Allah yawandiika okugera
kwebitonde emyaka emitwaalo etaano nga tannaba okutonda
ggulu nensi).
Ekyokusatu: okukkiriza nti byonna ebigwawo munsi bigwawo
lwakwagala kwa Allah, sisonga oba bikwata kubikolwa bye oba
kubikolwa byebitonde, Allah y'agamba:
٦٨القصص: چوئ ۉۋ ۋ ۅ ۅ ۉٹ ٹ چ
٢٧إبراهيم: چچ ڇ ڇ ڇ ڇ چ ٹ ٹ و
٦آل عمران: چڳ کڈ ڈ ژ ژ ڑ ڑ کچ ٹ ٹ و
{N'omulezi (Allah) atonda nga bwaba ayagadde era n'alonda
oyo gwaba ayagadde}
Era n'agamba: {Era Allah akola kyonna kyaba ayagadde}.
Era n'agamba: {Yooyo abatonda munnabaana zabannyamwe
nga bwab'ayagadde}.
Era Allah n'agamba kubikwatagana nebikolwa byebitonde:
٩٠النساء: چې ۇۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ۇ ٹ ٹ چ
66
٣٧١األنعام: چې ې ې ى ېۋ ۅ ۅ ۉ ۉ چ ٹ ٹ و
{Singa Allah yayagala yandibabateeredde nebabalwanyisa}.
Era n'agamba: {Singa Allah yayagala tebandikikoze baleke
n'okutemerera kwabe ku Allah kubanga ekyo kikosa bbo.}.
Ekyokuna: okukkiriza nti byonna ebiriwo (muggulu omusanvu
ne munsi) mubwennyini bwabyo nebitendo byabyo
nokwenyenya kwabyo Allah yeyabitonda. Allah y'agamba:
٦٢الزمر: چگ گ ڳ ڳ ڳ ڳ گک ک ک گٹ ٹ چ
٢الفرقان: چەئ ەئ وئ وئ ۇئ ۇئ چ ٹ ٹ و
{Allah yemutonzi wabuli kintu kyonna era yemmukuumi kubuli
kintu kyonna}.
Era Allah n'agamba: {Era y'atonda buli kintu kyonna era
n'akiteekateeka oluteekateeka}.
Era Allah n'agamba ku Nabbi Ibrahiim (s.a.w), nti y'agamba
abantu be:
٩٦الصافات: چڭ ڭ ۇ ۇ ۆ ٹ ٹ چ
{Era Allah yeyabatonda nebyemukola}.
Wabula okukkiriza okugera kwa Allah mumbeera
jekunyonnyoddwamu tekugaana bantu kuba nakwagala kwabwe
kubikolwa byabwe, oba okwesalirawo kubyebakola n'obusobozi
kubyo. Kubanga Obusiraamu nebyo byetulabako bitulaga
buluungi nga omuntu okuba n'obusobozi kubyo.
Allah y'agamba kukwagala kwomuntu:
٣٩النبأ: چژ ڑ ڑ ک ک ک ک ٹ ٹ چ
٢٢٣البقرة: چۈئ ىې ې ې ې ٹ ٹ چ و
67
١٦التغابن: چہ ہ ہ ھ ھ ھ ۆ چ وقال في القدرة:
چمت ېۋ ۋ ۅ ۅ ۉ ۉ ٴۇۇ ۆ ۆ ۈ ۈۇ چ ٹ ٹ و
٨٦٢البقرة:
{Oyo yenna ayagala (okusisiinkana Allah) ateekewo ekkubo
erinamutuusa jaali ng'amusiimeye (emirimu emiruungi)}
Era nagamba: {Mugende eri ennimiro zamwe (bakyala bamwe)
nga bwemuba mwagala}.
Ate Allah n'agamba kubusobozi bw'omuntu: {Mutye Allah nga
bwemuba musobodde, mube bawulize era bagonvu eri ebiragiro
bya mukama wammwe}.
Era n'agamba {Allah talagira mwoyo okujjako ekyo
kyegusobola, gujja kusasulwa ekiruungi kyegwakola era
guvunaanibye ekibi kyegwakola}.
Ate obujulizi mubirwabwako: Mazima buli muntu amanyi nti
alina obusobozi kukusalawo byakola nebyalekayo okkola
okusiinziira kukusalawo kwe, nga okutambula, nebyo
ebituukawo nga tebiri mukwagala kwe nga okukankana,
okwesisiwala, naye era tulina okumanya nti okwagala,
n'okusawo, wamu n'obusobozi bwabantu byonna bulina
kugoberera kusalawo kwa Allah. Kubanga Allah y'agamba:
چى ى ائ ائ ەئ ەئ وئ وئ ۇئ ۇئ ۆئ ۆئ ۈئ ۈئ ېئ چ ٹ ٹ
٩٢ - ٢٨التكوير:
{Eri oyo yenna mumwe ayagala okutereera (kukkubo
eggolokofu) ate nga temuyinza kwagala nakusalawo okujjako
nga Allah ayagadde, Omulezi webitonde byonna}.
Ate era olwokuba nti eggulu nensi byonna bwakabaka bwa
Allah, tewali ayinza kukolera kintu kyonna mubwakabaka bwe
nga Allah tamanyi oba okwagala kibeewo.
68
Era okukkiriza okugera kwa Allah mumbeera eyogeddwako
waggulu, tekuwa muntu kisonyiwo kwebyo byaba alese
mubyamulalikwako natabikola, oba okkola ebyonoono,
nolwekyo okujuliza okugera mukuleka byolina okkola oba
okkola byotalina kkola sikituufu olwensonga zino wammanga:
Esooka: Allah y'agamba:
ڤٺ ٺ ٺ ٿ ٿ ٿ ٿ ٹ ٹ ٹ ٹ ڤ ڤ ڤچ ٹ ٹ
ڇ ڇڃ ڃ ڃ چ چ چ چ ڃڦ ڦ ڦ ڦ ڄ ڄ ڄ ڄ
١٤٨األنعام: چڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ ڎ ڎ
{Bajjakugamba abo abagatta ku Allah ebintu ebirala, nti singa
Allah yayagala tetwandimugasseeko kintu kirala kyonna, wadde
bakadde baffe, Era tetwandifudde kintu kyonna kyamuzizo,
bwebatyo n'abasooka bwebaalimba, okutuusa bwebaakomba
kubibonerezo byaffe, gamba (owange Muhammad) nti abaffe
mulina okukumanya kwonna mukutujjireyo ko, temulina
kyemugoberela okujjako endowooza zamwe, Era temulina
kyemuli mwe okujjako abogera ebyobulimba ku Allah}.
Baba kubanga okwekwasa kwabwe n'okugera kwa Allah
kutuufu tebandikombezeddwa kubibonerezo bya Allah.
Eyokubiri: Allah yagamba:
ژ ژ ڈڇ ڇ ڇ ڇ ڍ ڍ ڌ ڌ ڎ ڎ ڈٹ ٹ چ
١٦٥النساء: چڑ ڑ ک
{Babaka nga basanyusa era nga batiisa abantu baleme
kyebekwasa eri Allah oluvannyuma (lwokujja) kwababaka,
Allah okuva edda nedda wakitiibwa owamagezi (ateeka buli
kintu mukifo kyakyo)}.
69
Eyokusatu: hadith eri mu swahiih bukhar ne musirimu, nga eva
ku Ali ibn abi twalib (Allah yasiima kuye) nga agijja ku Nabbi
(s.a.w) yagamba:
كتب مقعده من النار أو من الجنة. فقال رجل من ما منكم من أحد إال قد"
القوم: أال نتكل يا رسول هللا؟ قال: ال اعملوا فكل ميسر" ثم قرأ "فأما
من أعطى واتقى". وفي لفظ " فكل ميسر لما خلق له".
(Tewali n'omu mumwe okujjako nga yateekerwa teekerwa ekifo
kye mumuliro oba mujjana, n'abuuza omusajja mubantu
ab'aliwo nti kati tulekeyo okkola twesigamire kyekyo
ekyatugerekerwa? namugamba nti: nedda, wabula mukole buli
omu wakwanguyirizibwa,'' oluvannyuma nasoma {wabula oyo
yenna awaayo ebyo ebimuvunaanyizibwako mumabanja ga
Allah, era n'atya buli kyonna ekimunyiza}. munjogera ya hadith
endala '' buli omu wakwanguyirizibwa ekyo ekyamutonderwa'').
Bwatyo Nabbi (s.a.w) n'alagira okukola nagaana okwekwasa
okugera kwa Allah.
Eyokuna: Mazima ddala Allah yalagira abantu (byebalina
okkola) ate nabagaana (byebatalina kkola). Era talina
kyeyabalaalika kkola okujjako nga kiri mubusobozi bwabwe,
nga Allah bwagamba mu Qura'n:
١٦التغابن: چۆ ہ ہ ہ ھ ٹ ٹ چ
٢٨٦البقرة: چمت ٴۇۇ ۇ ۆ ۆ ۈ ۈٹ ٹ چ و
{Mutye Allah nga bwemusobola}
Era n'agamba: {Allah talaalika kumyoyookujjako ekyo
kyegusobola}. Nabwekityo omuntu abakuba nga akakibwa
bukakibwa byakola, yandibadde nga yalagirwa okkola
kyatalinaako busobozi, ate nga ekyo kikyamu, kubanga bwagwa
munsobi mubutanwa oba nga yelabidde, oba nga akakkiddwa
bukakibwa, talina musango kuba alina ekimusonyiyisa.
70
Eyokutaano: Mazima okugera kwa Allah, kyama kye
yakyesigaliza tewali akimanyi okujjako nga kimaze kutuukawo,
are okwagala kyomuntu kwebyo byakola kwekukulembera
ebikolwa bye, nekiba nti okwagalakwe okkola kyayagala
tekuzimbidwa kukumanya kuva muye olwokwagala kwa Allah,
nabwekityo okwekwasa kyomuntu kukugera kwa Allah
kuvaawo kubanga omuntu talina kwekwasa kwebyo batamanyi.
Eyomukaaga: Mazima ddala tulaba omuntu nga afaayo nnyo
kwekyo kyayagala mubintu bye duniya (ensi) okutuusa
lwakituukako, Era takivaako nga tannakifuna okujjako ekyo
Allah kyeyagera nti talikifuna, kati lwaki aleka ebinamugasa mu
bya akhirat (enkomerero) nakola ebigenda ommukosa nga
yekwasa nti Allah bwatyo bweyamugerEra, omulyango
gwensonga zombiri sigwegumu?.
Ekyolabiko mukutaangaaza obuluungi ensonga eno; singa
omuntu aba alina amakubo abiri, erimu kugo nga limutuusa
kukyalo nga kirimu obuvuyo, ekitta bantu, obunyazi,
okunyakula, nokutya okunji, wamu nenjala kakkunsi, ate nga
elyokubiri limutuusa kukyalo nga kiteeketeeke buluungi,
mulimu emireembe, kitebenkevu, nga nobulamu bwamu
buluungi, nokuwa ekitiibwa eri obulamu bwabantu, kugombi
ayinza kukwta liriwa?.
Mazima era akwata kubo lyakubiri erimutuusa kukyalo ekirimu
emirembe, Era nga tekisoboka eri buli ategeera kukwata kubo
limtuusa kukyalo kirimu buvuyo nekitta bantu, neyekwasa
okugera kya Allah, kati lwaki omuntu kunsonga za akhira
akwata ekkubo erimutwala mumuliro nga yekwasa okugera kwa
Allah?
Ekyokulabirako Ekyokubiri: tulaba omulwadde alagirwa
okumira eddagala naye nga talyagala, Era nebamugaana okulya
ebintu ebimukosa nabirekayo newankubadde nga omutima gwe
gubyagala nyo, olwokuba ayagala emirembe nokussuka
obuluungi, Era tasobola kugaana kunywa dagala, oba okulya
71
emmere emukosa, nga yekwasa okugera kwa Allah, kati lwaki
omuntu aleka Allah byeyamugamba okkola n'omubaka we, oba
n'akola ebyo Allah byeyamugaana n'omubaka we, oluvannyuma
neyeekwasa okugera kwa Allah?.
Eyomusaanvu: Mazima ddala omuntu eyeekwasa okugera kwa
Allah, kukulekayo ebyo Allah byeyamulagira okkola,
(ebyamulalikwako), oba okkola ebyonoono, singa omuntu
omulala amukolako obulyazaamaanyi, n'atwala ebyobugagga
bye, oba n'alinnyirira eddemberwe, oluvannyuma neyeekwasa
okugera kwa Allah, tayinza kukkiiruza nsonga ye, kati lwaki
takkiriza kwekwasa kwakugera kwa Allah mukumukolako
obulyazaamaanyi, ate ye neyeekwasa okugera kwa Allah
mukukola obulyazaamaanya ku Allah?.
Era kigambibwa nti amiir wabakkiriza umar ibn khattab (Allah
yasiima kuye) bamuletera omusajja nga abye asaanira kutemako
mukono, umar nalagira bamutemeko omukono, omusajja kyava
agamba nti lindako sebo amiir, Mazima nabbye naye
kulwakugera kya Allah, Umar n'agamba: naffe tukutemeko
omukono kulwakugera kwa Allah.
Okukkiriza okugera kwa Allah kulina ebibala bino
wammanga:
Ekisooka: Okwesigamira Allah mukuteekawo amakubo,
kisobole okkuyamba obuteesigamira makubo gokka nga olina
kyoyagala okkola, kubanga buli kintu kyonna kiriwo
kulwakugera kwa Allah.
Ekyokubiri: Omuntu obuteetwala nti wakitalo nnyo singa aba
atuuse kubiruubirirwa bye, kubanga okubituuka ko kyengera
okuva eri Allah, olwokumugerera ekkubo eddungi, nokuyitamu
obuluungi, kati singa yeelaba nga wakitalo nyo kiyinza
okumwerabiza okwebaza Allah.
72
Ekyokusatu: Obutebenkevu, neddembe mumutima mwebyo
byonna byayitamu mukugera kwa Allah, era teyeemalaamu
olwokuyitibwako byayagala oba okufuna byatamwa, kubanga
okwo kwonna kugera kwa Allah oyo alina obwakabaka
muggulu nemunsi, Allah yagamba kunsonga eyo:
ۅے ۓ ۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ۇ ۇ ۆ ۆ ۈ ۈ ٴۇ ۋ ۋٹ ٹ چ
ۇئ ۆئ ۇئۅ ۉ ۉ ې ې ې ې ى ى ائ ائ ەئ ەئ وئ وئ
٢٣ - ٢٢الحديد: چۆئ ۈئ ۈئ ېئ ېئ
{Tewali buzibu bwonna butuukawo munsi, wadde kummwe
mwennyini okujjako nga bwawandikiikibwa mukitabo
oluberyeberye nga tetunnaba kutonda nsi mazima ddala ekyo ku
Allah kyangu nnyo, Mulwoke muleme kunakuwala kwebyo
ebiba bibayiseeko era muleme kweyagala nakwekuza olwebyo
byeyabawa, Allah tayagala yenna eyeyagala neyekuza}.
Era bwekityo Nabbi (s.a.w) yagamba:
عجبا ألمر المؤمن إن أمره كله خير, وليس ذاك ألحد إال للمؤمن إن أصابته
كان خيرا له " رواه ن خيرا له, وإن أصابته ضراء صبر فسراء شكر فكا
مسلم.
(Embeera zomukkiriza zewunyisa, kuba buli kimu gyali
kiruungi, ate ekyo tekiri okujjako kumukkiriza, bwafuna
ekiruungi yebaza ''Allah'' nekiba nga kiruungi gyali, ate
bwatuukibwako obuzibu aguminkiriza, nekiba nga kiruungi
gyali). Hadith yayogerwa musirimu.
Waliwo ebibinja bibiri ebyabula kukugera kwa Allah:
Ekisooka: al jabariya, abagamba nti Mazima ddala omuntu
akakibwa bukakwibwa emirimu jakola, era talina busobozi
nakwagalakwe.
73
Ekyokubiri: al qadariyya, abagamba nti omuntu yemalirira
mubyakola, alina okwagala n'obusobozi bwe, sossi lwakugera
nakwagala kwa Allah.
Okuddamu eri ekibinja Ekisooka (al jabariyya). Nga obujulizi
buva mu Qura'n nemubiriwo ebirabwako.
Okuva mu Qura'n; Mazima ddala Allah yakakasa kumuntu
okwagala, n'okwesalirawo kyakola, era nagatta okkola omulimu
gyali bweyamba:
آل عمران: چہ ڱگ گ گ گ ڳ ڳ ڳ ڳچ ٹ ٹ
٥٢١
{Mumwe mulimu ayagala ensi era nemumwe mulimu ayagala
enkomerero}.
ڇ ڇ ڇ ڇ چڃ ڃ ڃ چ چ چ ڃڄ ڄ ڄ ڄٹ ٹ چ و
٢٩الكهف: چگ ڌڍ ڍ ڌ
Era n'agamba: {Gamba (owange gwe Muhammad) nti
byembagamba gemazima agava eri omulezi wammwe,
kisigadde jemuli okwesalilawo ayagala akkirize, n'ayagala
awakanye, Mazima ddala twategekera abalyazaamaanyi omuliro
bagenda kwetololezebwako olukomera lwomumliro}.
چجح مح جخ حخ مخ مجىث يث حج مثمت ىت يت جثٹ ٹ چ و
٦٤فصلت:
Era n'agamba: {Oyo yenna akola ekiruungi kyonna kigasa
myoyo gwe, nabuli yenna ayonoona, okwonoonakwe okwo kuli
kuye, Era omuleziwo (Allah) tabangako mulyazamaanyi eri
abaddu}.
Ate mubiriwo ebirabwako: Mazima ddala buli muntu amanyi
buluungi enjawulo eri wakati webikolwabye byakola
ebyakyeyagalire, n'okwagalakwe, okugeza nga okulya,
74
okunywa, okugula, okutuunda, nebyo ebimutuukako nga
teyeeyagalidde nga okukankana singa abadde n'omusujja, oba
okuva waggulu n'agwa. Omuntu mubikolwa (ebyakyeyagalire)
abikola nga yasazeewo nokwagala kwe Era nga takakiddwa
nakamu, ate ebitali byateyagalidde, bimutuukako nga
siyasazeewo Era silwakwagala kwe.
Ate okuddamu eri ekinja Ekyokubiri (al qadariyya), nakwo
kwamirundi ebiri, mu Qura'n nemumagezi:
Mu Qura'n, Mazima ddala Allah owekitiibwa yemutonzi wabuli
kimu, Era buli kyonna ekiriwo kiriwo lwakwagala kwe, Era
Allah yanyonnyola buluungio mukitabo ke (Qura'n), nti
ebikolwa byomuntu bibaawo lwakwagala kwe, bweyagamba nti:
ڤ ڤ ڤ ڦ ڦ ڦ ڦ ڄ ڄ ڄ ڄ ڃ ڃ ڃ ٹ ٹ چ
چڇ ڍ ڍ ڌ ڌ ڎ ڎ ڈ ڈ ژ ژ ڇڃ چ چ چ چ ڇ ڇ
٢٥٣البقرة:
{Singa Allah yayagala tebandirwanaganye abo abajja
oluvannyuma lwabwe, oluvannyuma lwobunyonnyofu
okubajjira, naye baayawukana, mubo mulimu abakkiriza, Era
mulimu nabaawakanya Singa Allah yayagala
tebandirwanaganye, naye Allah akola ekyo kyaba ayagadde
mubufuzi bwe}.
ٿ ٿ ٿ ٿ ٹ ٹ ٹ ٹ ڤ ڤ ڤ ڤ ڦ چ ٹ ٹ و
١٣السجدة: چڦ ڦ ڦ ڄ
{Singa twayagala buli mwooyo twandiguwadde obulungamu
bwagwo, naye ekigambo kyakata okuva munze (Allah) nti
njakujjuza omuliro okuva mumajjini nemubantu bonna}.
Ate okuddamu okwamagezi: tukimanyi buluungi nti ensi eno
yonna nebigirimu Allah yagifuga, ate n'omuntu ali munsi,
nolweekyo naye afugibwa Allah, atenga tekisoboka afugibwa
75
okweyisanga bwaba alabye mubufuzi bwamukamaawe okujjako
nga omukkiriza (mukamaawe), Era nga ayagadde.
EBIGENDERERWA BY'ENZIKIRIZA Y'OBUSIRAAMU.
Ebigendererwa byenzikiriza y'obusiramu, byebintu Obusiraamu
byebuluubirwa okutuukako, Era nga bufaayo nyo
okubyeekwatako, Era nga biri mubiti nemitendera ejenjawulo,
mubyo mulimu bino wammanga:
Ekisooka: Okkola omulimu gwonna kulwa Allah,
nokumusinza; kubanga yemutonzi, talina kimwegattako,
nekibanga kyatteeka okuba nga yasinzibwa yekka.
Ekyokubiri: Okununula amagezi, nendowooza zaffe okuva
mubuvuyo obuva mukuba nti omutima teguliimu nzikiriza eno
(eyObusiraamu), kubanga oyo yenna atalina nzikiriza eno
mukifuba kye, abeera nga omutima gwe mukalu Era mwereere
teguliimu nzikiriza ntuufu oba okubanga abbinkidde mububuze
obwenzikiriza empangirire obupangirizi.
Ekyokusatu: Okuwummula n'obutebenkevu bwomutima
nebirowoozo, omuntu alina enzikiriza eno taba nakwEraliikirira
mumutima gwe, wadde okulabaankana mundowooza, kubanga
enzikiriza eno egatta wakati womukkiriza nomutoziwe Allah,
nabanga amasiima okubanga yemulezi we, yamuteekErateekEra
obulamu bwe, yamuteerawo amateeka agamufuga
n'okumulamula, olwo omutima gwe neguba mutebeenkevu
kwebyo byaba amugeredde, Era ekifuba kye nekiba
kyanjulukufu eri Obusiraamu nga tasobola kubuwanyisaamu
kintu nakirala kyonna.
76
Ekyokuna: Okuba nebigenderwa ebituufu, nemirimu emiruungi
ebitali bipaangirire mukusinza Allah owekitiibwa oba
munkolagana wakati wo nebitonde, kubanga egimu kumisingi
gyaayo (enzikiriza y'Obusiraamu), okukkiriza ababaka nga
kuzingiramu okugoberera ekkubo lyabwe eriyina ebigendererwa
ebituufu nemirimu emiruungi.
Ekyokutaano: Obuvumu n'obunyinkivu mukkola emirimu
emiruungi, kikusobozese okuba nti tewali kakisa konna kakkola
murimu muruungi okujjako nga okakozesa nga osuubira
empeera ennuungi ewa Allah, Era nga tewali mbeera yonna
yakujeemera Allah okujjako nga ojesamba, kubanga egimu
kumisingi jenzikiriza eno, okukkiriza okuzuukira, nokubalibwa
kwemirimu. Allah yagamba:
األنعام: چپ پ پ پ ڀ ڀ ٻٱ ٻ ٻ ٻٹ ٹ چ
٣٢١
{Buli omu mubo alina empeera mwebyo byebaakola,
Mukamaawo simugayaavu kwebyo byebakola agenda kusasula
buli omu okusiinziira nga bweyakola}.
Ne Nabbi (s.a.w) yakubirizaanga nyo abagoberezibe ensonga
eno nagamba nti:
خير وأحب إلى هللا من المؤمن الضعيف, وفي كل خير, المؤمن القوي"
إحرص على ما ينفعك واستعن باهلل, وال تعجز, وإن أصابك شيء فال تقل
لو أني فعلت كان كذا وكذا ولكن قل: قدر هللا وما شاء فعل, فإن لو تفتح
. عمل الشيطان " رواه مسلم
(Omukkiriza owamaanyi yasinga obuluungi, n'okwagalwa ewa
Allah kumukkiriza omunafu, naye bonna balimu obuluungi,
gezaako nyo okkola ebikugasa osabe ne Allah okkuyamba
tokkirizanga okulemererwa, bwobanga olina ekikutuuseeko
togamaba nga singa nakoze bwenti kyandibadde bwekiti
n'ebwekiti, wabula gamba nti okwo kugera kwe Allah
77
n'akuteekateeka kwe, era akola kyaba ayagadde, kubanga
mazima ekigambo ''singa'' kiggulawo emirimu gyasitaani).
Ekyomukaaga: Okuteekawo ekibiina ekyaamaanyi, ekiwaayo
buli kyekirina okuyimirizaawo Eddini y'akyo, n'okunyweza
empagi zaayo, nga tebafuddeeyo kubibatuukako mukkubo eryo.
Allah y'agamba kunsonga eyo:
ھ ھ ے ے ۓ ۓ ڭ ڭ ڭ ڭ ۇ ٹ ٹ چ
١٥الحجرات: چٴۇ ۋ ۋ ۅ ۈۇ ۆ ۆ ۈ
{Mazima ddala Abakkiriza beebo abakkiriza Allah n'omubaka
we, oluvannyuma tebakafuna kubuusabuusa, nebalwaana
mukkubo lya Allah nemmaali yabwe nabo bennyini abonno
bebakkiriza ab'amazima}.
Ekyomusaanvu: Okutuuka kukwesiima munsi nekunkomerero,
nga eyita mukuloongosa embeera y'abantu kina kimu n'abali
awamu, nokufuna empeera yabo abaasembezebwa. Allah
yagamba:
گڈ ژ ژ ڑ ڑ ک ک ک ک گ گ گٹ ٹ چ
٩٧النحل: چڳ ڳ ڳ ڳ ڱ ڱ ڱ
{Oyo yenna Akola omulimu gwonna omuruungi, mubasajja oba
mubakyala, nga naye mukkiriza, Tujja kumuwangaaza
omubulamu obuluungi, era tujja kubasasula empeera yabwe
kwebyo ebisinga obuluungi byebaali bakola (nga
tubakubisirizaamu)}.
Ebyo byebimu kubigendererwa byenzikiriza y'obusiraamu,
Tusaba Allah atusobozese okubituukiriza wamu nabasiraamu
bonna ameena.
78